Amawulire

Bp. Banja atuuzizza Ssaabadinkoni w’e Gayaza

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Banja atuuzizza Ssaabadinkoni w’e Gayaaza, Ven. Capt.Wasswa Mwanje ow’e 11 mu Busabadinkoni buno obusangibwa mu Bulabirizi bw’e Namirembe.

Bp. Banja atuuzizza Ssaabadinkoni w’e Gayaza
By: Moses Nyanzi, Journalist @New Vision

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Banja atuuzizza Ssaabadinkoni w’e Gayaaza, Ven. Capt.Wasswa Mwanje ow’e 11 mu Busabadinkoni buno obusangibwa mu Bulabirizi bw’e Namirembe.

Omukolo gwetabiddwaako omulabirizi okuva e Nakuru mu Kenya, Anthony Mambo n’omukyala ssaako abatwala ekkanisa yaayo, abaatenderezza ennyo enkola y’emirimu ku kkanisa ya Uganda.

Omulabirizi Banja Ng’atuuza Ssaabadinkoni W’e Gayaaza Omuggya Ven. Mwanje. Asooka Ku Ddyo Ye Mukyala Mwanje

Omulabirizi Banja Ng’atuuza Ssaabadinkoni W’e Gayaaza Omuggya Ven. Mwanje. Asooka Ku Ddyo Ye Mukyala Mwanje

Eyabadde omubuulizi w’olunaku, Rev.Can. Jonathan Kisawuzi Ssaalongo yasabye Ssaabadinkoni Mwanje okwefumiitirizanga ku kuyitibwa kwa Musa okw’okununula abaana ba Yisirayiri, n’amusaba obuteenyooma, obutatya abeere mumalirivu kuba Katonda alina ensonga mu kuyitibwa kwe.

Yamusabye okusembezanga abakyayiddwa n’abo bonna abaluubirira okusuula ekkanisa abasembeze olwo amaanyi ge babadde bakozesa okugimenya bagakozese mu kugizimba yeeyongere okunyweera n’okubuna wonna.

Mu kwogera kwe Ven. Capt. Mwanje yayiseeyise mu buweereza bwe yonna gy’azze atumwa okutuusa lwe yalondeddwa okuba Ssaabadinkoni. Yeeyamye okuzimba n’okuzza obuggya amakanisa n’amasomero, ng’azimba n’amaggya, waakussa nnyo essira ku bavubuka, abakadde n’abaana.

Yagambye nti waakuzimba n’okutandikawo Pulojekiti ez’enjawulo omunaavanga ensimbi okuyimirizaawo emirimu gy’ekkanisa n’okusimba emiti kuba nabwo buweereza obumukwasiddwa Omulabirizi.

Tags:
Amawulire
Gayaza
Bulabirizi
Banja
Namirembe