Pastor Bujingo ne Suzan Makula bakiise embuga ne bawagira enteekateeka y'amazaalibwa ga Kabaka

Mar 25, 2025

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akiggumizza nti tewali asobola kuggya Buganda ku Maapu ya Uganda.  

NewVision Reporter
@NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akiggumizza nti tewali asobola kuggya Buganda ku Maapu ya Uganda. 

Mayiga agamba nti abafulumya ebintu ebyo bagenderera kuwugula bantu ba Buganda okuva ku mulamwa gw'okujaguza obulungi mu bikujjuko by'amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 70  nga gano gakubeerawo nga April 13,2025.

Kamalabyonna okuvaayo bwati kiddiridde wiiki ewedde UBOS okufulumya Maapu ya Uganda okutali linnya Buganda ekintu ekyawaawaza amatu g'abantu. 

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Full Figure

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Full Figure

"Njalagala okubakakasa nti tewali asobola kuggya Buganda ku Maapu ya Buganda kubanga Buganda ly'ejjinja ery'okunsonda okwazimbirwa ensi Uganda. Ebyo siyiiya biyiiye,ekyo bwekyaali. Njagadde okukyogerera wano,abantu bagume,basigale nga beemalidde ku kwetegekera emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka," Mayiga bwagambye.

Olwa kino Mayiga aggumizza  Obuganda nti Buganda ku Maapu ya Uganda kweri, tewali asobola kuggiggyako n'olwekyo abo abafulumya ebyo Bali ku byabwe. 

Okwogera bino abadde Bulange-Mmengo ng'ayaniriza Pr. Aloysius Bugingo akiise e Mmengo okwetaba mu nteekateeka y'emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka ng'abadde wamu n'abamu ku bagoberezi be.

Katikkiro Mayiga asabye abantu okusigala obumu nga bebunguludde Kabaka. 
" Mwebale okujja okugula emijoozi okwenyigira mu kaweefube wa Kabaka okulwanyisa Mukenenya. Tulwanyise Mukenenya ng'abasajja babeera basaale ku kulaba ng'abakyala tebakwatibwa bulwadde buno," Mayiga bwasabye.

Bugingo ayanjudde ettu lya bukadde mukaaga mwaguze emijoozi 300 ate era aleese ente bbiri eziri amawako ng'amakula ga Kabaka ag'amazaalibwa ge egy'emyaka 70 egy'obulamu.

Bugingo ategeezezza ng'okukiika embuga bwakikoze lwa nsonga nnya okuli okuba nti Ekanisa ye n'abagoberezi bassa ekitiibwa mu Bwakabaka nga bwekiri mu Bayibuli nti Katonda ye Kabaka wa Bakabaka,okuwagira emisinde, n'ebirala.

Amakula Bujingo galeese

Amakula Bujingo galeese

Musajja wa Katonda Ono ayise ne Mukyala we Namakula Nantaba era amuwadde akazindaalo okubuuza ku Katikkiro.

Nantaba yeyanjulidde Katikkiro nga bweyeddira Olugave era azaalibwa Kikyusa e Luweero,Bulemeezi.

Omuntu Omulala azze ne Bugingo naye ng'asanyusizza Katikkiro ye Full Figure Nakangubi,gwayogeddeko ng'Omuntu gwabadde talabangako mu buntu era  n'amwebaza olw'okuvangayo n'agamba ku bantu abavuma abavoola Obwakabaka.
Emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka gyakubeerawo nga April 6,2025. Giwagiddwa Bukedde ne Newvision empapula za Vision Group, Airtel,I&M Bank, Nivana,Majestic  Brands n'abalala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});