Owa NUP eyavuma Pulezidenti Museveni asindikiddwa e Luzira

Mar 26, 2025

OMUVUBUKA omuwagizi wa NUP agambibwa okwekwata akatambi n'akassa ku mukutu gwe ogwa TikTok ng'akuma omuliro mu bantu n'okuvvoola omukulembeze w'eggwanga asindikiddwa mu kkomera e Luzira

By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision

OMUVUBUKA omuwagizi wa NUP agambibwa okwekwata akatambi n'akassa ku mukutu gwe ogwa TikTok ng'akuma omuliro mu bantu n'okuvvoola omukulembeze w'eggwanga asindikiddwa mu kkomera e Luzira.

Juma Magairewo 32, amanyiddwa nga Juma wa Bobi nga munnakibiina kya NUP, omutuuze w'okuttaano e Nateete mu Lubaga akola ogwa Makanika y'asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Omulamuzi Adams Byarugaba n'amusomera ogw'okusiga obukyayi ng’akozesa yintaneeti ekikontana n’amateeka.

Kigambibwa nti ono yeekwatwa akatambi ng'akyokooza omukulembeze w'eggwanga n'okumuvuma ssaako ekibiina kya NRM ng'assaawo enjawukana mu by'obufuzi era mu katambi, yali alaga obusungu ng'awera okutta ababaka ba NRM n'abakulembeze abalala be baawukanya endowooza.

Ono era yalaga nga bw’awadde omukulembeze w’eggwanga ennaku mbale okulaba ng’ayimbudde abantu be yayita abawagizi baabwe ng’ekitali ekyo waakukolawo akatiisa.

Mu kkooti yakiikiriddwa looya we Haruna Nsibuka eyamusabidde okweyimirirwa naye nga tebatuukiriza bisaanyizo era n'addizibwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga April 1, 2025 lwe bannaddamu okuteekamu okusaba

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});