Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka awabudde abagezaako okutabula eddembe eryaleetebwa Gavumenti ya NRM
Mar 27, 2025
AKULIRA enzikiriza y' Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye bannayuganda okwewala okulya mu bannaabwe enkwe naddala nga baweebwa ssente okutabangula emirembe egyaletebwa gavumeti ya pulezudeti Museveni.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA enzikiriza y' Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye bannayuganda okwewala okulya mu bannaabwe enkwe naddala nga baweebwa ssente okutabangula emirembe egyaletebwa gavumeti ya pulezudeti Museveni.
Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka ng'akulembeddemu abagoberezi
Bisaka okwogera bino abadde ku kyalo Kabyamirwe mu ggombolola ye Bufunjo mu disitulikiti ye Kyejonjo ku mukolo ogwategekeddwa ab'enzikiriza y' Obumu.
Abagoberezi ba Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka nga bali munnyiriri
Yagambye nti abantu mu kifo ky'okudda mu bikolwa ebitabangula emirembe, basanye bakole pulojekiti ezikulaakulanya kibayambe okweggya mubwavu.
Ku mukolo guno, ab'enzikiriza y' Obumu baayingizza abantu 257 ate abalala 357 ne baweebwa obuvunanyizibwa
Related Articles
No Comment