Ssente z’okuzimba Pentagon zitabudde Bugingo n’abagoberezi

Mar 28, 2025

PAASITA Bugingo akatemye ababadde bamubeeba okuzimba ekkanisa gye baakazaako erya Pentagon nti, ssente eziriwo tezimala wadde okusima omusingi gwayo.

NewVision Reporter
@NewVision

PAASITA Bugingo akatemye ababadde bamubeeba okuzimba ekkanisa gye baakazaako erya Pentagon nti, ssente eziriwo tezimala wadde okusima omusingi gwayo.
Abaalabye ku katambi nga Paasita Aloysius Bugingo ayogera we watali ssente za kkanisa gye baakazaako erya Pentagon, buli omu yayogedde bibye nga  beebuuza ekyatuuka ku ze bazze basonda.
Kyokka mu katambi akoogerwako, yabawadde ansa nti, bajjukire nti, bamaze ebbanga
nga batetenkanya eby’okuzimba ekkanisa eyo okuva 2019 nga bagamba nti, beetaaga obuwumbi 100, kyokka ebyo bizze bikyuka nga kati singa babadde balina ssente, bandibadde beetaaga obuwumbi nga 120 okugizimba.
Yagambye nti, abazimbi nga babawadde kontulakiti okutandika okugizimba kati, baba beetaaga okubawaako ku ssente ezitandika ebitundu 30 ku 100.
Nga bwe baba babaliridde ku buwumbi 100, baba beetaaga obuwumbi 30 okutandika okuzimba.

Bugingo ng’atunuulira entuumo ya ssente okuva mu bagoberezi.

Bugingo ng’atunuulira entuumo ya ssente okuva mu bagoberezi.


Bugingo eyabadde abuulira endiga ezimugoberera nga imwegese amaaso mu kasirise,
yagasseeko nti, ne ssente ze bazze basonda okugizimba, teziwera wadde obuwumbi
omusanvu.
Bugingo nga ye musumba w’ekkanisa ya House of Prayer Ministries International,
yasooka kukung'aanya ssente mu ndiga n’agula ettaka lye baatuuma Canaan Land e Makerere - Kikoni mu Kampala kati we baagala okuzimba ekkanisa eyogerwako.
Kigambibwa nti, ettaka eryo lyamalawo wakati w’obukadde bwa doola butaano ku musanvu.
Ettaka liriko yiika munaana nga yiika y'ettaka mu bitundu ebyo ku ssaawa eno etemera wakati w'obukadde 800 n'akawumbi.
Ng’amaze okugula ettaka, yasengula ekkanisa ne bava ku Bat  Valley ku Bombo Road ne badda mu Kikoni kati awoogerwako.
EBIZIBU BYA BUGINGO NE MUKYALA WE BWE BIKWATAGANA NE PENTAGON
Mu 2019, ebyali eby’ekyama ku kutabuka kw’amaka ge ne mukyala we omukulu,
Teddy Naluswa, gwe yagattibwa naye mu bufumbo mu 2003 mu kkanisa ya
Victory Church mu Ndeeba byamanyika mu lujjudde.
Bugingo alina abaana abana mu Teddy nga bakulu okuggyako, Isaac Miracle Bugingo,
(mu kiwandiiko bamuyita Bugingo) atannaweza myaka 18, yalangira mukyala we bw’ayagala okubuzaabuza eby’ekkanisa.
Bugingo yagamba nti, ekyanyiiza omukyala, ye paasita oyo okukyusa ebiwandiiko by’ekkanisa ebyali mu mannya ge n’aga mukyala we n’abaana, n’agattako abantu abalala okuli;
Paasita Francis Mutaawe n’abamu bantu b’ekkanisa abalala.
Mu
kutabuka kuno, 120 Ze ssente mu buwumbi Omusumba Bugingo z’agamba nti,
ze yeetaaga okuzimba Pentagon. n’eby’omukozi wa Bugingo ku kkampuni ya Salt Media amanyiddwa nga Susan Makula okubeera naye mu ngeri eyali ng’eraga omukyala
n’omwami ng’ate mufumbo ewa Naluswa, we byatandikira. Ke kaseera n’ennyumba
amakula esangibwa e Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso nayo we yamanyikira
nti, Makula gy’abeeramu, olwo ebigambo ne bisituka buto, naddala ku ssente ezaagizimba.
Bugingo alina n’ennyumba endala eya kalina Naluswa mw’abeera e Kajjansi ku lw’e
Ntebe. Atambulira mu mmotoka Land Cruiser V8. Yaweebwa abakuumi ab’amaanyi okuva omukuumi we Richard Muhumuza lwe yattibwa mu January wa 2024, paasita oyo bwe yali atuuse ku nkulungo ya Bawalakata e Namungoona nga bali mu mmotoka
endala Land Cruiser V8 enjeru.
EBIRALA mU KATAMBI KA BUGINGO NG’ATEMAATEMA SSENTE ZA PENTAGON
Bugingo mu katambi ke kamu yagasseeko nti, abantu bazze boogerera Pentagon ne bamuteeka ku puleesa y’okugizimba. Yagenze mu maaso ’agamba nti, n’atasondanga
ssente yonna ku kkanisa eyo, naye ayogera!
Bugingo nga bw'ajuliza ennyiriri mu Bayibuli, yagambye nti, si kirungi kutandika kuzimba kkanisa ku puleesa kuba eyinza okukoma mu kkubo, kyetaaga kumala kwetegekera ddala. Gye buvuddeko kigambibwa nti, abantu be bamu abaamubanja Pentagon be baamuwaliriza okuva mu mbeera n'atuuka okubabuuza nti, "Pentagon ya
nnyoko?" Kyokka okuva akatambi akapya lwe kaafulumye nga Bugingo atemaatema ssente za Pentagon, emikutu gya ‘social media’ gyakongeddemu ebirungo
n’obubadi mu ngeri ya katemba mu kwewuunya ebya ssente ezo. Era abamu bateekamu
n'akayimba ka "Kasongo yeeye" Bugingo ng’aliko by’annyonnyola. olumu ke yayimba ng'abuulira
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});