Obubinja bw’abatunda enjaga busensedde abeebyokwerinda
Mar 28, 2025
OBUBINJA obw’omutawaana obw’abakukusa n’okutunda enjaga ey’ebika eby’enjawulo omuli ey’obuwunga n’ey’amazzi bweraliikirizza poliisi olw’engeri gye busimbye emirandira mu Uganda n’okutendeka abaana abato okuginywa ssaako okugitunda mu ng’eri ey’ekikugu.

NewVision Reporter
@NewVision
OBUBINJA obw’omutawaana obw’abakukusa n’okutunda enjaga ey’ebika eby’enjawulo omuli ey’obuwunga n’ey’amazzi bweraliikirizza poliisi olw’engeri gye busimbye emirandira mu Uganda n’okutendeka abaana abato okuginywa ssaako okugitunda mu ng’eri ey’ekikugu.
Abayaga beeyambisizza amateeka amanafu, enguzi mu bitongole bya Gavumenti n’obunafu mu bitongole ebirina okulwanyisa okukukusa enjaga, omuli omuwendo gw’abaserikale omutono n’obutaba na butendeke bumala.
Poliisi erina ekitongole kya ‘Anti Narcotics’ ekyateekebwawo okulwanyisa ebiragalalagala kyokka kino tekirina bukugu mu kugirwanyisa, abaserikale batono nga n’ebikozesebwa omuli ssente ezeetaagisa okulwanyisa enjaga tebimala.
Mu 2024, Palamenti yayisa etteeka ly’ebiragalalagala erikyusiddwaamu kyokka n’okutuusa kati etteeka terikubibwanga mu kyapa kya Gavumenti, ekiwadde abayaga ekyanya okwegazaanya n’okutambuza enjaga awatali tteeka libakugira.
Ensonda mu bitongole by’ebyokwerinda zaategeezezza nti, abayaga balina ssente nnyingi ate bazuula emiwaatwa mu bitongole ebirina okubalwanyisa n’ebikonge mu Gavumenti be babawa enguzi enjaga n’etambula okutuuka mu masomero ne mu bbaala.
Omubaka wa munisipaali y’e Mityana mu Palamenti ate nga y’akulira abavubuka mu kibiina kya NUP, Francis Zaake, agamba nti, ekirina okukolebwa okumalawo ebiragalalagala mu ggwanga ye minisitule ekwatibwako gamba ng’ey’abaana n’abavubuka okukola enteekateeka gamba ng’ez’okubudaabuda abavubuka abasangibwa nga bakozesa ebiragalalagala basobole okubivaako nga tebakoseddwa bwongo.
ABAYAGA BASIMBYE EMIRANDIRA
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, olw’embeera eri mu ggwanga, abayaga basimbye emirandira okuva mu masomero.
Omubaka wa Palamenti owa Nakaseke Central, Allan Mayanja agamba nti, ekisinze okuvaako okweyongera kw’ebiragalalagala mu ggwanga kwe kuba nti, abavubuka tebasomeseddwa kimala era abamu babinywa nga balowooza banyuENJAGA
BWE BAGITUNDA MU UGANDA
Kkiro ya Meth oba ice, ensonda zaategeezezza nti, egula doola 3,000 mu za Uganda (11,400,000/-), kiro ya Cocaine, egula doola 15,000 mu za Uganda (57,000,000/-) ate Heroine, kkiro egula wakati wa ddoola 7,000 ne 10,000 mu za Uganda (26,600,000 ku 38,000,000/-).
Ensonda zigamba nti, ebika bino byonna, kisinziira ku nsawo na busobozi bw’oyo aginywa era ebika byonna bitundibwa mu bbaala z’omu Kampala naddala mu bifo ebicakaliramu bannaggwadda.
“Waliwo enjaga endala gye baleeta naye nga yo ddagala lya kujjanjaba bulumi, kati nga Tramadol, Pethdine, Ecstasy n’ebirala naye wateekeddwaawo okubeerawo olukusa lw’omusawo ng’amaze n’okulambika obulwadde kyokka abamu bagikozesa mu bukyamu,” ensonda bwe zaagambye.
OBUKODYO OBULALA BWE BAKOZESA OKUGIYINGIZA MU GGWANGA
Ku ntandikwa y’omwaka guno, waliwo omunene mu Gavumenti (amanya gasirikiddwa) eyagula emmotoka okuva mu Amerika okugireeta mu ggwanga, mmotoka eno bambega ba poliisi kigambibwa baafuna obukessi nti, yalimu enjaga. Bwe yagiggya mu Amerika, yagitwala Brazil ne bagipakira enjaga oluvannyuma n’etikkibwa ku nnyonyi.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, baasaba olukusa okukebera mmotoka ku kisaawe e Ntebe ne balemesebwa.
“Abayaga mu ggwanga b’amaanyi n’okusinga ebitongole by’ebyokwerinda, bakuumibwa banene nga ne bw’omukwata, essimu ekubwa okuva mu ofiisi z’otosuubira ne bakulagira omute,”omuserikale eyawummula poliisi bwe yagambye.
Yagasseeko nti waliwo abakulu mu poliisi ne mu magye abayamba abayaga okwegazaanya ne bakukusa enjaga awatali kulemesebwa.
Enjaga endala ensonda mu poliisi zaategeezezza nti bagikukusiza mu ssukaali naddala ava e Brazil, omuceere oguva e Pakistan n’ebyamaguzi ebirala ebiva mu mawanga g’Abawalabu ne Latin America.
“Twetaaga okuteeka ebyuma ebikebera enjaga ku nsalo za Uganda ne ku kisaawe e Ntebe kubanga enjaga esinga, eyingizibwa mu byamaguzi ebisuubulibwa mu mawanga ge tumanyi agakola enjaga. Singa ekyamaguzi kisuubulwa e Buyindi ne kiyitirako e Pakistan, nsonga ki eba ekitwaza e Pakistan?” om uku baserikale b’ekitongole ekirwanyisa enjaga mu ggwanga bwe yeebuuzizza.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti emisango omuli ettemu, okukwata abaana n’okusobya ku bakazi, obubenje obususse mu ggwanga, ebitundu ebisinga buva ku njaga naye tewali afaayo kunoonyereza omuntu eyakoze omusango oba akabenje embeera gye yabaddemu.
Abaserikale nga beebulunguludde amaka ga Balinda mu 2017.
mirwa kumbe beeyonoona.
Mu mbeera eno osanga abantu mu bbaala nga banuusa ebintu ebitategeerekeka olw’okuba balabye abalala nga babinuusa kyokka ekyewuunyisa nti, ebintu bino byonna bigenda mu maaso nga poliisi etunula butuzi n’etebaako ky’ekolawo.
“Kino kiraga nti, Gavumenti tetadde maanyi geetaagisa mu kulwanyisa ebiragalalagala bino, ggwe ate weebuuze bye tuwulira nti, biva bweru wa ggwanga, ku kisaawe ky’ennyonyi biyitawo bitya?” Mayanja bwe yabuuzizza.
“Abaana baffe babayigiriza enjaga nga bato okuva mu masomero nga bagiyisa mu byokunywa n’ebyokulya, bagitunda kyere mu masinzizo nga beefudde abatunda ebyokulya, olaba mwana kwagala kika kya bumpwankimpwanki ekimu nga tomanyi kwe kiva,” ensonda mu poliisi bwe zaategeezezza.
Ensonda zigamba nti, okunoonyereza okukoleddwa kulaga ng’abayaga bazze n’enkola y’okwagala okusooka okuyigiriza abaana enjaga etandikirwako erimibibwa kuno n’oluvannyuma batandike okubaguza eyaabwe gye bakukusa ne bayingiza kuno.
“Abakozesa enjaga y’obuwunga eyo ey’ebbeeyi baba tebagitandise kw’olwo, lwe mubalaba mu bbaala nga baginuusa naye baba baatandika dda, basookera ku ya bulijjo ne bagenda nga bakula mu muze mpolampola.” Ensonda bwe zaategeezezza
No Comment