Mukaamwana atabukidde nnyalazaala we lwa kumulimba

Mar 31, 2025

Mukamwana alumiriza nnazaala obutatuukiriza byeyamusuubiza n'okusinga okumuwa poloti, bweyali amusendera mutabani we okumuwasa, alemeddeko nti ssinga tebimuwebwa agenda mu kooti.

NewVision Reporter
@NewVision

Mukamwana alumiriza nnazaala obutatuukiriza byeyamusuubiza n'okusinga okumuwa poloti, bweyali amusendera mutabani we okumuwasa, alemeddeko nti ssinga tebimuwebwa agenda mu kooti.

Omuwala ayagala nti nnazaala amuliyirire olw'okumumalira ebiseera nga abazaalidde abaana babiri.

Nalutaaya Sharifah agamba nti nnazaala we Hariet Kideni bweyali amusendasenda afumbirwe mutabani we Godfrey Monoja yasuubizibwa okumusalira poloti ssinga azaalira mutabani we omwana.

Oluyombo lusituse omukadde n'alumiriza mukamwana nti mukambwe yegeza mu mutabani we okumutematema era mu kiseera kino omusajja amaka yagaabulira.

Omukadde agambye nti ye yasanga mutabani we Monoja baamukwano ne Nalutaaya n'amwongererezaako ku byokutengula omuwala wabula ebyokusuubiza omuwala poloti tebyalimu.

Nalutaaya agamba nti nnazaala yamusaba azaalire mutabani we omwana omu wabula ye n'azaala babiri omulenzi n'omuwala wabula nnazaala alemeddwa okutuukiriza byeyeyama.

Bano batuuze b'e Nazigo mu Kinyara Zone mu Nazigo town council mu disitulikiti y'e Kayunga.

Tubasanze ku kitebe kya disitulikiti y'e Kayunga mu ofiisi ya Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu Nalutaaya gyeyaloopye nnazaala we Kideni olw'okumusuubiza empewo.

Nalutaaya ekyamutabudde kwekuwulira nti ebyamusuubizibwa tebinnamuwebwa kyokka bba yafunyisizza omukazi omulala olubuto era nga ne maama abimanyiko.

Monoja oluwulidde nti nnyina ne mukazi beeyasa azze bunnambiro era atuusa asala akatuuyo n'agatta ku bigambo bya nnyina ku ngeri mukazi we gy'amutulugunya.

Nalutaaya alabudde bba nti lumu wakwesitula alumbe mukyala mugole wabula ekiribeerawo Katonda y'akimanyi.

Omukadde ayagala abaana batwalibwe bakeberebwe endaga butonde kubanga enkola za nyabwe zimuleetedde okubabuusabuusa.

Omukadde ajjukizza Nalutaaya nti mukazi musiraamu era eddiini ekkiriza omusajja okuwasa abakazi bana kati lwaki omu yekka eyamwongerwako amukayanya.

Kafeero awadde Nalutaaya amazegi nti mu byonna byabanja asooke awe omukadde ekitiibwa n'amugumya nti mu maka ga Monoja mwali tewali ayinza kugamujjako ne bwebatamuwa ndagaano gy'abanja.

Kafeero alagidde Monoja atandike okulabirira amakaage aleme kwesulikira ku ludda lwa mugole era atwale omwana omukulu mu ssomero.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});