Ab’e Kiboga baagala ekyapa ky’ettaka lye baagula kidde mu linnya lya SACCO

Mar 31, 2025

Bammemba ba Kiboga Twegatta Cooperative SACCO abasoba mu 20,000, basabye abakulembeze baabwe okukyusa ekyapa ky’ettaka eryabaguzibwa William Tumwine ne mukyala we kidde mu linnya lyabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

Bammemba ba Kiboga Twegatta Cooperative SACCO abasoba mu 20,000, basabye abakulembeze baabwe okukyusa ekyapa ky’ettaka eryabaguzibwa William Tumwine ne mukyala we kidde mu linnya lyabwe.

Bano be bantu abaagobwa ku ttaka ly’ebibira e Kiboga ne Kyankwanzi mu 2009 gye baali bamaze emyaka 30, ne basigala nga babundabunda.Turyamureeba

Turyamureeba

Oluvannyuma beekolamu ekibiina ekibagatta ekya Kiboga Twegatte Cooperative , gavumenti n’ebawa ssente obuwumbi 3 okunoonya gye badda okwekulaakulanya.

Tumwine ne mukyala we baabawadde yiika z’ettaka 500 e Kassanda, nga zikyali mu mannya gaabwe (aga Tumwine) olwo bammemba kwe kusaba ekyapa kikyusibwe okudda mu mannya gaabwe ag’ekibiina emitima gibatereere.

Bammemba Nga Bali Mu Lukiiko.

Bammemba Nga Bali Mu Lukiiko.

Baabadde mu lukiiko olw’enjawulo olwatudde ku ofiisi z’ekibiina e Kassanda. Beeyamye okusonda ssente okukyusa ekyapa okudda mu mannya gaabwe obutasukka mwezi gumu.

Baatadde abakulembeze baabwe ku nninga okukwasisa Bitangaaro amaanyi, abalage ettaka ly’azze abasuubiza okubawa kati emyaka 10.

Julius Turyamureeba, ssentebe w’ekibiina ategeezezza nti, Tumwine ne Kakuba baamaze okusasula ebyabwe kati baasigazza Bitangaaro eyeeyama okusasula.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});