Abantu basatu bafiiridde mu kabenje e Matugga
Apr 02, 2025
ABANTU basatu bebafiiridde mu kabenje akagudde e Matugga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu emmotoka bwetomedde piki piki bbiri okubadde abasaabaze ne baddusibwa mu ddwaliro lya magye e Bombo kyokka ne bafa nga bakatuusibwa mu ddwaliro.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU basatu bebafiiridde mu kabenje akagudde e Matugga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu emmotoka bwetomedde piki piki bbiri okubadde abasaabaze ne baddusibwa mu ddwaliro lya magye e Bombo kyokka ne bafa nga bakatuusibwa mu ddwaliro.
Akabenje kano kagudde mu kkoona e Matugga nga wakayisa ku Mabanda nga ekkoona lino obeera oyingira Kigoogwa asooka nga emmotoka ekoze akabenje edduse kyokka ne leka nga etomedde endala ekika kya VITZ nnamba UAX 309M ebadde edda e Bombo bwetyo ne tomera piki piki bbiri okubadde UFH 759F ne UMA 742N nga bano bafudde nga bakatusibwa mu ddwaliro lya magye e Bombo nga akabenje kano kaguddewo obudde bwebubadde nga bukya..
Akabenje kano okubaawo kigambibwa nti kavudde ku mmotoka ekika kya Subaru ebadde edduka embiro nga ebadde egenda Luwero wabula okutuuka mu kkoona nayagala okuyisa ate nga bwavuga sipidi, wakati mu koono kwekusangayo emmotoka endala ebadde egenda e Kampala nga nayo edduka, wano owa Subaru kyakoze kwekutomera amubadde mu mbirizi owa VITZ wano kwekutandika okutagalira mu Kubo okukkakkana nga atomedde piki piki bbiri era abazibaddeko ne bayisibwa bubi nga abamu bakutuseemu amagulu ate abalala nebakuba emitwe wansi.
Related Articles
No Comment