Ab’e Kassanda babalaze ebyobulimi ebinaababbulula
Apr 02, 2025
ABATUUZE mu disitulikiti y’e Kassanda bongedde okuteeka amaanyim mu kulima emmwaanyi ne muwogo, nga bagamba nti bye birime ebigenda okubaggya mu bwavu.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE mu disitulikiti y’e Kassanda bongedde okuteeka amaanyim mu kulima emmwaanyi ne muwogo, nga bagamba nti bye birime ebigenda okubaggya mu bwavu.
“Okuva edda e Kassanda tuli balimi naye ate twongedde okulaba nti emmwaanyi kikyali
kirime kya ttunzi nga kati twagala kwongeramu maanyi, tuyambagane twongere okuzirima mu bungi,”
Haji Siraje Ssendawula, ssentebe w’abeegassi mu kibiina kya Tropical SACCO e Kassanda bwe yagambye.
Ssendawula yabadde mu lukung’aana lwa bammemba bonna olwatudde ku Kyato Hotel e Kassanda mwe yayanjulidde ebituukiddwaakoomwaka oguwedde ne
bye bategese okukola mu mwaka ogutandise.
Yagambye nti mu mwaka oguwedde bayambye bammemba abawerako nga babawa endokwa z’emmwaanyi, n’okubasomesa ku nnima yaazo ey’omulembe nga
kino bagenda kukyongeramu amaanyi omwaka guno.
Gye buvuddeko twatandika okukunga bammemba okulima ennyo emmwaanyi naye nasanyuse bwe nsanze omu ng’akungudde eziweza obukadde bwa ssente era ne tusalawo tukole ekisoboka okwesiba ku kuzirima era kye nsaba bammemba okukola,” Ssendawula
bwe yagasseeko. Omubaka wa Palamenti akiikirira Kassanda North, Patrick Nsamba
akunze bammemba okukozesa omukisa guno beenyigire mu bulimi ekinaabayamba okwongera okukyusa obulamu bwabwe. Swalleh Ssendawula, maneja wa SACCO eno yagambye nti kati minisitule yabawadde amagezi batandike okutuuza enkiiko mu
bitundu eby’enjawulo awava bammemba nga bammemba bakiikirirwa
bannaabwe abatonotono, olwo bwe baddayo babatuuseeko ebiba biteeseddwaako.
No Comment