Omubaka Naluyima ajunye abalwadde ba ssukaali e Ntebe

Apr 03, 2025

OMUBAKA  omukyala owa disitulikiti y'e Wakiso, Betty Ethel Naluyima adduukiridde abalwadde ba sukaali mu ddwaaliro lya Ntebe Referral Hospital n'obugaali n’abalagira okukola dduyiro kubanga nakyo kiyambako nnyo mu kukuuma obulamu bwabwe  obulwadde ne butabayisa bubi nnyo, olwo ne bagattako obujjanjabi.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUBAKA  omukyala owa disitulikiti y'e Wakiso, Betty Ethel Naluyima adduukiridde abalwadde ba sukaali mu ddwaaliro lya Ntebe Referral Hospital n'obugaali n’abalagira okukola dduyiro kubanga nakyo kiyambako nnyo mu kukuuma obulamu bwabwe  obulwadde ne butabayisa bubi nnyo, olwo ne bagattako obujjanjabi.

Omubaka Naluyima agambye nti abantu bangi bafuna obulwadde bwa sukaali ne balowooza nti baabaloga ekintu ekikyamu , bw'atyo ne yeebaza abalwadde abasobodde okutegeera obulwadde ne baddukira mu ddwaaliro .

Agambye nti bbo nga ababaka bafuba okulaba nga waakiri wabaawo ssente ezongezebwa mu malwaliro , gafune eddagala  era n'asuubiza okukwatagana ne bakulembeze banne okulaba nga basakira eddwaliro ly'e Ntebe.

Abasabye bamire eddagala ng’abasawo bwe babalagira  nga beesiga ne Katonda, era n'agabira abalwadde abali obubi ennyo naddala abo be baatemako amagulu olw'ekirwadde, bubatambuze.

Akulira eddwaliro lino, Johnbosco Nsubuga , agambye nti gavumenti ekoze ogwayo okulaba nga essa abasawo mu malwaliro wabula ono alaze obwennyamivu olwabalwadde ate abeeyongera buli lukya , ekyongedde ku bwetaavu naddala obweddagala mu ddwaliro lino .

Ono naye akuutidde abantu okwewala endwadde olwendwadde nga emitima, sukaali, ebyeyongedde ate nga okugema kusinga okuwonya.Ate nabasaba okukendeeza emmere ereeta ennyo amasavu mu mubiri .

Ategeezezza nti bafuna abalwadde ba sukaali buli wiiki wakati  wa 150-170, ekintu ekyennyamiza, era yeebaza gavumenti ne ministry yebyobulamu okutuusa eddala wansi mu malwaliro , n’alabula ku kirwadde kya Kawaali [Mpox] ekyeriisa enkuuli mu bitundu ebyenjawulo mu ggwanga, n’abasaba bakyewale nebikireeta byonna.

Ye Rachael Kisaakye akulira abalwadde bano asiimye omubaka Naluyima olwokubadduukirira ne yeebaza ne gavumenti wamu n’abasawo ababafaako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});