Gavumenti erinnyisizza emisolo ku sigala ne bbiya ebikolebwa wano!

Apr 03, 2025

GAVUMENTI ereese emisolo emipya ku sigala ne bbiya akolebwa mu birime bya wano n’ekigendererwa eky’okukung’aanya obuwumbi 19 n’obukadde 40 n’okukendeeza abakwatibwa endwadde eziva ku babikozesa.

NewVision Reporter
@NewVision

GAVUMENTI ereese emisolo emipya ku sigala ne bbiya akolebwa mu birime bya wano n’ekigendererwa eky’okukung’aanya obuwumbi 19 n’obukadde 40 n’okukendeeza abakwatibwa endwadde eziva ku babikozesa.

Ng’ayanjula emisolo emipya eri akakiiko ka palamenti akalondoola eby’ensimbi, minisita Henry Musasizi ategeezezza nti babadde n’okwemulugunya okuva mu b’ebyolamu nga basaba bino byongezebweko emisolo n’abafuuweta sigala okukendeera nti basaasaanyizibwako ensimbi nnyingi okubajjanjaba.

 

Musasizi agambye nti guno gwakuva ku nnusu 650 ezibadde ziggyibwako okudda ku nnusu 900 nga ennyongeza eno yaakuyambaga eggwanga okwetaasa mu katyabaga ke lirimu kati ak’okunoonya ensimbi ezigenda okutambuza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2025/26.

Minisitule y’ebyensimbi era ereese omusolo ku bintu ebikozesebwa awaka nga biva bweru w’eggwanga (import declaration fee) nga bino basuubira bijja kuvaamu obuwumbi 79 ezigenda okweyambisibwa okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka. 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});