Abayamba ku basuubuzi okusasula omusolo gw’ebyamaguzi ebiyingira eggwanga kkooti ebasindise Luzira
Apr 17, 2025
ABAYAMBA ku basuubuzi okusasula omusolo gw’ebyamaguzi ebiyigira mu ggwanga kkooti ebasindise Luzira.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAYAMBA ku basuubuzi okusasula omusolo gw’ebyamaguzi ebiyigira mu ggwanga kkooti ebasindise Luzira.
Abavunaaniddwa kuliko Dick Kanakulya owa kkampuni ya Lyton Shipping and Freight Ltd, Thomas Kabetayo 37, akola ku by’okubalirira emisolo ssaako Enock Tayebw
Kanakulya bw'afaanana.
Baasimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Wandegeya ne bavunaanibwa okwepena omusolo ekyafiiriza Gavumenti ssente obukadde buna.
Oludda oluwaabi lwategeezezza nti omwezi oguwedde e Nakawa abawawaabirwa baayingiza endiboota 20 ez’ensawo z’abakazi ekika kya Aimee PCV nga bakimanyi nti tebasasudde musolo.
Kabehayo avunaaniddwa okukola embalirira enkyamu bwe yakkiriza okuyisaawo endiboota 20 ng’akimanyi nti kikyamu.
Babadde maaso g’omulamuzi Christopher Opit era emisango bagyegaanyi.
Bannamateeka baabwe baategeezezza kkooti nti zino ssente ntono nnyo era bwe baweebwa obudde bandikyusa ne bakkiriza omusango baleme kwonoona budde bwa kkooti.
Omuwaabi wa Gavumenti, Brian Nkoyooyo yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso n’asaba baweebwe olunaku olulala.
Omulamuzi yabasindise ku limandi okutuusa nga May 5,2025.
No Comment