Gavumenti ereese etteeka ku bazimba eby’obulabe

Apr 20, 2025

GAVUMENTI ereese etteeka ekkambwe ku batagoberera mateeka ga buzimbi eririmu okukusiba emyaka 12 n’okuliwa obukadde 10.

NewVision Reporter
@NewVision

GAVUMENTI ereese etteeka ekkambwe ku batagoberera mateeka ga buzimbi eririmu okukusiba emyaka 12 n’okuliwa obukadde 10.
Biri mu bbago ly’etteeka erifuga obuzimbi erya Building Control (Amendment) Bill, 2025 eryayanjuddwa mu Palamenti.
Minisita omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama yagambye nti etteeka lyakoleddwa okwongera amaanyi mu mateeka agabaddewo ng’akakiiko ka National Building Review Board, okutereeza emirimu gy’obukiiko bw’obuzimbi awamu n’okwongera okutereeza emitendera egiyitibwamu okufuna pulaani z’ebizimbe.
Omuntu anaakwatibwa nga tagoberedde mateeka ga buzimbi ajja kusibwa ebbanga okutuuka ku myaka 12, oba okuwa engassi okutuuka ku bukadde 10 oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
Singa kizuulibwa nga waliwo obulagajjavu bw’omuntu omu obwaviiriddeko akabenje okugwawo ku kizimbe ne kivaako omuntu okulumizibwa oba okufa, eyavuddeko obuzibu awa engassi ya bukadde 10, okusibwa emyaka 12 oba ebibonerezo byombi.
Singa bakusanga ng’ozimba nga tolina pulaani ekukkiriza osasula 20,000/- buli square metre oba okusibwa emyaka ebiri oba okuweebwa ebibonerezo byombi. Mu mbala ennyangu, ennyumba ya bulijjo ey’ebisenge ebisatu ebeera ya square metre 100, era obeera olina okugisasulira 2,000,000/-.
Etteeka era lirina ebibonerezo byakagwirawo ku misango egimu ebiweebwa era ng’akakiiko k’obuzimbi kasobola okulagira ekizimbe ne kimenyebwa singa bakizuula nga tekigoberedde mateeka.
Etteeka eribaddewo erya Building Control Act, eyazimba obubi babadde balina kumutwala mu kkooti ekintu ekitwala obudde obuwanvu nga bawulira omusango.
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abapunta b’ettaka ekya Insitution of Surveyors of Uganda, Alozious Gonza yagambye nti ekyokuwa ebibonerezo ebya kagwirawo kirungi kuba kiyamba okutereeza ensobi ezisobola okutereezebwa okusinga okulinda ekizimbe ne kitta abantu.
Yawadde eky’okulabirako ky’abazimbi okusangibwa nga tebalina bikozesebwa byakwekuuma nga ovulo, eby’oku mutwe ne giraavu z’omu ngalo ebiyamba okutangira obubenje. Mu mbeera eno avunaanyizibwa okukulaakulanya ekifo asaana okuweesa engassi.
Omukubi wa pulaani z’amayumba, Muhammad Nsereko owa 3M Designs and Construction yasanyukidde etteeka, kyokka n’alabula ng’ebibonerezo ebyobuliwo bwe bisobola okweyambisibwa okusaba enguzi okuva mu bantu. “Ebirowoozo byonna birungi ku ludda lwa Gavumenti enoonya emisolo, kyokka bijja kuvaamu okulya enguzi. Omuntu ayinza okukwatibwa ng’asobezza ng’ekibonerezo kya kusasula 1,000,000/- naye abavunaanyizibwa ne bamugamba bw’abalabamu nga bamuleka,” Nsereko bwagamba.
Lipooti eyafulumizibwa ekitongole kya National Building Review Board mu May wa 2024 yalaga nti Bannayuganda 108 be baafiira mu bubenje bw’ebizimbe mu myezi 52, ekitegeeza nti abantu babiri be bafa buli mwezi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});