Nakibinge akyali mwennyamivu olw’abaagoba Katongole mu UTODA

Apr 04, 2025

JAJJA w’Obusiraamu mu ggwanga, Dr. Kassim Nakibinge alaze obulumi olw’abantu abaalwanyisa omugenzi Hajji Musa Katongole eyali ssentebe wa UTODA ne bamugoba mu mulimu gw’okusaabaza abantu.

By William Buyondo
Journalist @New Vision

JAJJA w’Obusiraamu mu ggwanga, Dr. Kassim Nakibinge alaze obulumi olw’abantu abaalwanyisa omugenzi Hajji Musa Katongole eyali ssentebe wa UTODA ne bamugoba mu mulimu gw’okusaabaza abantu.

Nakibinge yabyogeredde mu kusoma dduwa ya Hajji Katongole e Nakasajja-Bugerere era nga lwe gyaweze emyaka ena bukya ava mu bulamu bwa nsi.

Yagambye nti waliwo abantu abalina omulugube nga balowooza nti buli kimu kirina kuba kyabwe.

Yawadde ekyokulabirako nti abaagoba Katongole ne UTODA mu mulimu gw’okuddukanya takisi baaviirako obulamu bw’abantu bangi okudobonkana abaali baguyimiriddeko.

Nakibinge yeebazizza abaana ne bannamwandu ba Katongole olw’okukolera awamu n’agamba nti wadde nga mu kusooka baalina ebibasoomooza kyokka mu kiseera kino byaggwaawo era batambulira wamu.

Akulira ebya ddaawa mu ofiisi ya Supreme Mufti, Sheikh Yasin Kiweewa yasabye abaana b’omugenzi okusigala nga bakola kitaabwe bye yakolanga kuba eyinza okuba y’ensonga lwaki yafa mugagga.

Supreme Mufti Muhammad Galabuzi yeebazizza abantu bonna abakyalina omutima ogujjukira Katongole. Ku mukolo guno baasondeddeko ssente z’okugula emmotoka ya District Khadi w’e Kiryandongo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});