Aba ttakisi balaajanidde Pulezidenti ku bipapula bya tulafiki

Apr 04, 2025

Mu ngeri y’emu baagala Pulezidenti ayogereko n’abakulira ekitongole ky’emisolo babakkirize okuyingiza mmotoka ekika kya Kigege ezaakolebwa mu myaka emikadde nga mu kiseera kino zaawerebwa okuleetebwa mu ggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULEMBEZE ba ttakisi balaajanidde Pulezidenti Museveni ku bibaluwa ebikubwa mmotoka zaabwe ne bamusaba abataase.

Mu ngeri y’emu baagala Pulezidenti ayogereko n’abakulira ekitongole ky’emisolo babakkirize okuyingiza mmotoka ekika kya Kigege ezaakolebwa mu myaka emikadde nga mu kiseera kino zaawerebwa okuleetebwa mu ggwanga.

Abakulembeze Ba Takisi Nga Bali Ne  Ssentebe Waabwe Rashid Ssekindi (ku Ddyo) Mu Lukiiko Mwe Baabagidde Ekiwandiiko Kye Baaweerezza Pulezidenti Museveni.

Abakulembeze Ba Takisi Nga Bali Ne Ssentebe Waabwe Rashid Ssekindi (ku Ddyo) Mu Lukiiko Mwe Baabagidde Ekiwandiiko Kye Baaweerezza Pulezidenti Museveni.

Bino n’ensonga endala abattakisi nga beegattira mu kibiina kya UTOF baazitadde mu kiwandiiko eky’emiko ebiri kye baaweerezza Pulezidenti Museveni nga baagala okumusisinkana abayambeko okuzigonjoola.

Baategeezezza nti abapoliisi y’ebidduka bakuba mmotoka zaabwe ebipapula mu bukyamu, wabula bagezezzaako okwekubira enduulu naye tebayambibwa. Baagambye nti mmotoka zaabwe ezimu ziriko ebipapula bya bukadde 11, kyokka nga bw’oba waakugitunda tevaamu wadde obukadde omukaaga!

Nti ensonga eno baludde nga bagyemulugunyaako okuva ku mulembe gw’eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura era baamutuukirira ne bamulaga nti waliwo n’emmotoka za takisi ezimu poliisi y’ebidduka z’egamba nti yazikuba ebipapula kyokka nga zaali zikyali Japan.

Mu ngeri emu era baagala Pulezidenti ayingire ne mu nsonga ya gavumenti okuyimiriza mmotoka za takisi ezaakolebwa wansi w’emyaka omunaana okuva ku mwaka gwe mubaamu okuyingira mu Uganda ekintu kye bagamba nti kibakosa.

Bagamba nti takisi mulimu gwa banaku nga akakwakkulizo k’okuyingiza mmotoka etakka wansi w’emyaka munaana okuva ku mwaka oguliko kifuula mmotoka eno ey’ebbeeyi okuva ku bukadde 40 ze baali bagulirako Kigege okutuuka ku bukadde 90 ezigula ‘drone’.

Era baagala Pulezidenti akkirize bayingize mmotoka Kigege ezaakolebwa okuva mu 2010 zisobole okusaabaza abantu kubanga ‘drone’ za bbeeyi nnyo ate ne sipeeya waazo ali waggulu. Bamusabye nabo balowoozebweko ku ssente za PDM nga bazifunira mu ppaaka zaabwe kibanguyize okumanya ani yafunye n’atannafuna.

Ekirala, baagala pulezidenti akkirize beenyigire butereevu mu kumuwagira ng’omuntu mu kalulu ka 2026 nga batambuza abawagizi be nga bwe kyali ku mulembe gwa UTODA.

Mu nsisinkano eno baagamba nti bajja kumwanjulira ebibiina byabwe mwe beegattira nga lino yakibalagira okukola emyaka esatu egiyise nga bino byonna biri wansi w’ekibiina ekibagatta bonna ekya UTOF.

Baagala era okumusaba baweebwe obukuumi ku paaka zonna naddala mu Kampala mu kiseera ky’okulonda kubanga abasaabaze baabwe abamu tebabeera mu byabufuzi kyokka oluusi ne basanga okutaataaganyizibwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});