Aba ttakisi bazzeemu okutabuka ku nsonga z’obukulembeze
Apr 08, 2025
WABALUSEEWO okusika omuguwa mu kibiina omwegattira abattakisi mu Uganda ekya Federation of Uganda Taxi Operators, (UTOF) oluvannyuma lw’abamu ku bakulembeze mu kibiina kino okulumiriza ssentebe waabwe Rashid Ssekindi okweremeza mu ntebe.

NewVision Reporter
@NewVision
WABALUSEEWO okusika omuguwa mu kibiina omwegattira abattakisi mu Uganda ekya Federation of Uganda Taxi Operators, (UTOF) oluvannyuma lw’abamu ku bakulembeze mu kibiina kino okulumiriza ssentebe waabwe Rashid Ssekindi okweremeza mu ntebe.
UTOF mwegattiramu ebibiina bya takisi 6 ng’abamu ku bakulembeze mu kibiina kya UTRADA okuli Sadat Ssemwanje ne Francis Ssemakadde, nga bagamba nti, baabulidde UTOF lwa Ssekindi kweremeza mu buyinza so nga ekisanja kye eky’emyaka ebiri gye yaweebwa okukulembera UTOF kyaggwaako.
Ssentebe Rashid Bw'afaanana.
Ssemwanje ne Ssemakadde baagala Ssekindi alekulire kubanga emirimu gye baamukwasa nga bamuwa obuyinza omuli okugatta baddereeva, okuggyawo entalo mu ppaaka, okuwandiisa takisi ne baddereeva, kw’ossa okutegeka okulonda bimulemye okukolako, nga tewali nsonga lwaki asigala ku bwassentebe.
Wabula Ssekindi bwe yatuukiriddwa yagambye nti, bingi by’akoze mu myaka esatu gye beekwasa, omuli okugatta baddereeva ne bakondakita.
Agamba nti, yasanga buli siteegi erimu enjawukana okuva ku kondakita, ddereeva, n’abakulu ku siteegi ng’entabwe eva ku bukulembeze.
Wabula asobodde okumalawo entalo zino, era tewakyali kuyiwa musaayi na kulwanagana mu ppaaka.
Era agamba nti, baamaze okubaga Ssemateeka, agenda okuluhhamya omulimu gwa takisi mu ggwanga lyonna, nga kibeetaagisa emyaka emirala ettaano okubannyonnyola Ssemateeka ono by’alambika.
Era yabajjukizza nti, mu ofiisi taliimu nga Ssekindi, wabula alimu oluvannyuma lw’ebibiina byonna okwegatta ne bimulonda okubikulembera nga Ssentebe.
Kwe kubawa amagezi baddeyo mu bibiina byabwe mwe bajjira, okwemulugunya kwabwe bakutegeeze abakulembeze baabwe kubanga be bamyuka be.
Kinajjukirwa mu September wa 2021, eyali akola nga RCC wa Kampala Hudu Hussein yagatta ebibiina bino omusanvu ne bifuuka ekibiina kimu n’ekigendererwa eky’okumalawo entalo.
Muno Mwalimu Inter-Taxi ekyali kikulemberwa Kalifani Musajjalumbwa, COTSA ekikulemberwa Ssekindi, UTODA ekikulemberwa William Katumba, UTRADA ekulemberwa Mustafa Mayambala, n’ebirala.
No Comment