Eyali afulumira mu kyenda Bukedde n'emuwandiikako afunye abadduukirize

Apr 05, 2025

OMWANA eyali afulumira mu kyenda wabweru w'olubuto bamulongosezza abazadde ne basiima bukedde olw'omuwandiikako abazira kisa ne bamuddukirira 

NewVision Reporter
@NewVision
OMWANA eyali afulumira mu kyenda wabweru w'olubuto bamulongosezza abazadde ne basiima bukedde olw'omuwandiikako abazira kisa ne bamuddukirira 
 
Ruth Namudayi 7 muwala Kaana Namalero 42 ne Toofa Mulembe ab'e  Buwesa  mugombolola ye Busabi mu muluka gwe Malagha mu disitulikiti Butalejja omwaka oguwedde abaddukira mu bukedde nawandiika ku muwala waabwe eyali afulumira mu kyenda ab'eddwaliro lya Children Surgical Hospital erisangibwa e Ntebbe olwalaba amawulire ne basalawo okulongoosa Namudayi
 
Namalero maama  Namudayi yagambye yesiba ekyenda nga wa wiiki emu bwe yamutwala ku ddwaliro e Mbale abasawo n'ebakifulumya wabwe gy'abadde yeyambibwa   ne  bamusaba 4500,000/ okumulongoosa ze yali talina okutuusa Moses Lyada omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu e Butalejja bwe yamukwasaganya ne Bukedde namuyamba nga kati omwana we ali mbeera nungi.
 
Moses Lyada yasiimye Bukedde  olw'okulumirirwa omuntu wa wansi ku Namulero ne bba tebalina ssente ng'era omwana waabwe teyandifunye mukisa kulongosebwa naye eddwaliro lya Children Surgical Hospital lyamulongoserezza ku bwerere nga maanyi ga Bukedde
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});