Munnamawulire wa Bukedde TV ekubiddwa mu kwekalakaasa kw'amasannyalaze e Mukono

Apr 06, 2025

Poliisi ewaliliziddwa okukuba omukka ogubalagala ssaako n'amasasi okugumbulula abatuuze ku kyalo Ngandu, mu nisipaali ye Mukono abavude mu mbeera ne bekalakaasa nga baagala ekitongole kya UEDCL kizeeko amasanyalaze agamaze omwezi mulamba nga tegaliiko

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi ewaliliziddwa okukuba omukka ogubalagala ssaako n'amasasi okugumbulula abatuuze ku kyalo Ngandu, mu nisipaali ye Mukono abavude mu mbeera ne bekalakaasa nga baagala ekitongole kya UEDCL kizeeko amasanyalaze agamaze omwezi mulamba nga tegaliiko.

Mu kavuvungano akabaddewo waliwo munamawulire wa Bukedde akubiddwa ku mutwe  era nga mu kiseera kino  ali mu ICU ku ddwaliro lya case clinic.

Abatuuze okuva mu mbeera kidiride okukulungula kumpi omwezi mulamba nga bali mu kibululu, nga abamu nadala abookya ebyuma , salon wamu n’abalina amaduuka gaabwe bali baggalawo

Abantu nga bekalakaasa olw'amasannyalaze

Abantu nga bekalakaasa olw'amasannyalaze

Embeera eno ewaliriza poliisi okuva e Wantoni ssaako ne Mukono okujja okwanganga embeera era poliisi yawalirizidwa okukuba amasasi ne tiiya gas era nga akanyolagano kamalide dalla edakiika nga 45, era poliisi emaze kukwaata omuvubuka Dustan Mbogo eyakulembeddemu abatuuze okwekalakasa olwo embeera ne kakana.  

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirirano Patrick Onyango ategeezezza nga bwabaliko omuntu eyakwatidwa, nga n’omuyiggo gukyagenda mu maaso ku muyizi w’essomero agambabibwa okukasuka ejjinja elyakubye Kalyankolo, era ng’emisango egyenjawulo okuli okukuma mu bantu omuliro, okulemesa poliisi okukola saako n’okulumya munamawulire gyagudwaawo, era omukwate akumibwa ku poliisi enkulu e Mukono.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});