Batongozza ekibiina kya People Power Front
Apr 06, 2025
EKIBIINA ekipya ekyefaananyiriza NUP kitongozeddwa abakulemzeze baakyo ne bawaga nga bwe bagenda okuyuguumya mu kalulu ka 2026.

NewVision Reporter
@NewVision
EKIBIINA ekipya ekyefaananyiriza NUP kitongozeddwa abakulemzeze baakyo ne bawaga nga bwe bagenda okuyuguumya mu kalulu ka 2026.
People Power Front (PPF) kyatongozeddwa ku Lwokuna, Ssabaawandiisi waakyo, Spartan Mukagyi n’ategeeza bannamawulire nti, baawandiisizza obubonero bwabwe omuli n’akakoofiira akamyufu, ekikonde n’ehhombo ya ‘People Power, Our Power’.
Kyokka ebintu ebyo bimanyiddwa okukozesebwa ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulemberwa Robert Kyagulanyi. Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Julius Mucunguzi eyatuukiriddwa okutangaaza ku kuwandiisa ekibiina ekyo yategeezezza Bukedde nti, kyawaayo okusaba kwakyo mu butongole wabula yabadde alina okuddamu okwetegereza oba kyawandiisibwa. era yasabye atuddire mu kadde katono ky’ataakoze.
Aba PPF baagambye nti ekibiina kyabwe kiri mu mateeka era kigenda kusimbawo ababaka ku mutendera gyonna okuva ku Bwapulezidenti, obubaka bwa Palamenti okutuukira ddala ku LC
Ku nsonga y’ebintu ebyawandiisiddwa ng’ebya NUP, ssentebe w’ekibiina ekyo Hajji Musa Misango yagambye nti; “Ffe bamu ku baatandika People Power kyokka bwe twalaba ng’eva ku bigendererwa bye twagitandisa tuwabule Gavumenti ku bintu ng’obutakkiririza mu by’amawanga, obusosoze mu bukulembeze n’ebirala ebiruma abantu, kwe kusalawo tuve ku bukulembeze bwa People Power obwasooka tutandike obwaffe tutereeze ababadde bakikulembera bye balemeddwa.
No Comment