Poliisi eyodde 42 ku by'okutigomya abantu n'okumenya amateeka

Apr 08, 2025

Ekikwekweto ekibaddemu okugobagana n'okusikangana ebitogi mu Kampala , kiyodde abagambibwa okuba abakyamu 42.

NewVision Reporter
@NewVision

Ekikwekweto ekibaddemu okugobagana n'okusikangana ebitogi mu Kampala , kiyodde abagambibwa okuba abakyamu 42.

Ebimu ku byuma bye baabakutte nabyo.

Ebimu ku byuma bye baabakutte nabyo.

Bano, babayodde okuva mu mwala gw'e Nakivubo, New Taxi park, Namayuba bus terminal , Namungoona okumpi ne Northern by pass era nga batwaliddwa ku poliisi ez'enjawulo okubasunsulamu.

Mu kikwekweto kino, bakwatiddemu egambibwa okuba enjaga, ebiso, ebyuma ebyeyambisibwa okumenya amayumba, n'ebintu ebirala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti , abaakwatiddwa, abamu ,babadde babanoonya ku bubbi bw'okusala ensawo, okubbira mu jjaamu, n'okubbira ku Northen by Pass .

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});