Aba takisi bagobye akabinja akalwanyisa Ssekindi

Apr 09, 2025

ABA takisi batudde bukubirire ne bagoba mmemba waabwe Sadat Ssemwanje Kalyango atuula ku lukiiko olufuzi nga bamulanga okutandika entalo mu mulimu gwabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

ABA takisi batudde bukubirire ne bagoba mmemba waabwe Sadat Ssemwanje Kalyango atuula ku lukiiko olufuzi nga bamulanga okutandika entalo mu mulimu gwabwe. Olukiiko luno olwabaddemu baddereeva ne bakondakita lwetabiddwaamu Ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi, omumyuka we Mustafa Mayambala n’abakulembeze okuli;
William Katumba, Charles Ntale ne Magid Nsiiko. Bonna bakkaanyizza nti, Sadat Ssemwanje Kalyango, abadde akulira abavubuka ku lukiiko olufuzi ayimirizibwe n’alagirwa okweyanjula mu kakiiko k’empisa akatwala ekibiina kya
UTOF.
Bino biddiridde Kalyango ne naku aleme kunnwanyisa, ne mbigaana kubanga sirina kye ngulirira.
Yayongerako nti, mbassizza obwavu ne mmutegeza nti, UTOF teringa UTODA eyalina ttenda nga bakuηηaanya ssente ne bafi ssaako. Ffe aba UTOF tukola gwa kulabirira bulabirizi takisi, KCCA oba gavumenti y’etwala ssente ze babaggyako.
Eby’okugamba nti, twegattira wa RCC Hudu Hussein, ekyo kituufu naye twali tugenzeeyo mu lukiiko lwa byakwerinda, RCC n’atuwa amagezi nti, omulimu gwaffe gavumenti egenda kugutwala ffenna ebiwaayi ebyali birwana ne tutya ne twegatta.
Kino gavumenti kyagisanyusa era minisita w’ebyentambula Gen. Katumba Wamala n’atulagira tugende tukole olukiiko olugatta ebibiina byonna gattako okuzza emitima
Ssentebe wa takisi mu Uganda, Rashid Ssekindi (akutte omuzindaalo)
n’omumyuka we, Musitafah Mayambala nga basisinkanye olukiiko olufuga takisi
nga bagoba Sadat Ssemwanje. Kozesa Vision Digital Experience, olabe vidiyo. munne Ssemakadde okutuuza olukuηηaaana lwa Bannamawulire ne basaba Ssekindi  n’abakulembeze ba UTOF okulekulira kubanga emirimu gibalemye, ate ng’ekisanja ekyabaweebwa eky’emyaka ebiri kyaggwaako dda, naye beeremezza mu bukulembeze.
Wabula Mayambala yatabukidde Kalyango nti, ebigambo bye yayogedde bibye ng’omuntu so si bya kibiina kya UTRADA mw’ava. “Ffe tetuyinza kukkiriza muntu ayagala kuddamu kutabangula takisi n’okuwubisa Bannayuganda”. Ssekindi yategeezezza aba takisi  nti, wiiki ewedde Ssemwanje yajja mu lukiiko lwabwe olw’oku ntikko n’aleeta ekirowoozo nti, banzigyemu obwesige (Ssekindi), wabula bammemba ne bagaana.
N’ayongerako nti, bwe kitabeera kityo, mmuwenga 30,000/- buli lugya baddereeva  baali beeyawudde yawuddemu okumala emyaka ebiri. Yayongeddeko nti, omulimu guno babadde bagukoze bulungi naye nga UTOF yali terina Ssemateeka aguluηηamya ng’ono aliwo kati twamukoze ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Twakkiriziganyizza nti, tugenda kutegeka okulonda nga tuyita mu bibiina byaffe omukaaga ebyegatta naye nga tumaze okutalaaga eggwanga nga tusomesa baddereeva ne bakkondakita. Ebibiina ebyegatta kuliko; KOTSA eya Rashid Ssekindi, UTRADA eya Musitafah Mayambala, Independent eya Charles Ntale, Magid  Nsiiko Inter taxi, William Katumba wa UTODA ne Shafi c Kaleebu owa Cosita. Ssekindi yawadde Ssemwanje ne banne abaagala okumugoba mu ntebe amagezi basooke batuuze olukiiko lw’abattakisi olufuzi balyoke
bamuggyemu obwesige, so si kubeera ku mboozi za ku mwenge

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});