Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka agumizza abantu b'omu West Nile nti tewali ajja kutabangula ddembe lyaleetebwa NRM
Apr 09, 2025
KULIRA enzikiriza y'Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka agumizza abantu b'omu West Nile nga bwewatali muntu agenda kutabangula mirembe gyaleetebwa NRM mu kitundu kyabwe.
By Peter Ssaava
Journalist @New Vision
AKULIRA enzikiriza y'Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka agumizza abantu b'omu West Nile nga bwewatali muntu agenda kutabangula mirembe gyaleetebwa NRM mu kitundu kyabwe.
Ow'obusobozi Bisaka okwogera bino yabadde akulembeddemu gw'okulamaga mu bitundu bya West Nile nga baasinzidde mu disitulikiti ya Arua.
Abagoberezi nga bali ne Bisaka
Bisaka yagambye nti bangi bajja ne bawubisa abantu ssaako okuvumaganya n'okuseketerera Gavumenti ng'ate wrina ebirungi bingi byekoledde Gavumenti.
Bisaka yasinzidde mukulamaga kuno nayanilinza abantu abaasobye mu 230 nga mwabaddemu n'abazungu okuva mu nsi ya Budaaki abasaze eddiro ne begatta ku nzikiriza yo Obumu okuva mu madiini amalala.
Yabakutidde okwewala emize egy'okwawula mu bantu era nabassba okuwagira Gavumenti ya NRM naddala mukulonda kwa 2026.
Okulamaga kumulundi guno kwaabadde wansi w'omulamwa gw'okusomesa Obumu kwossa n'okumanyisa abantu mu West Nile ebirungi ebikoleddwa Gavumenti ya NRM kwossa ne Pulezidenti Museveni.
Okulamaga kwayindidde ku kisaawe kya OPM mu kibuga Arua nga kwamaze ennaku 4.
Bbo abakulembeze mu kitundu kino nga bakulembeddwamu RPC wa West Nile Alfred Zaake bebazizza nnyo Owobusobozi Bisaka olw'okuyambako Gavumenti mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka kwossa nokuuwa abantu emirimu nga tafuddeyo kunzikiriza zaabwe.
Omukama Bisaka
Ye Rcc wa Arua City Salim Komaketch yasabye abakkiriza okusigala nga bagoberera nnyo enteekateeka za Gavumenti era neyebaza Owobusobozi Bisaka olw'okukumaakuma abawereza okubeera abakozi ennyo.
Abantu abasoba mu 167 bayambaziddwa amakanzu okutandika okuwereza Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka nga bano bavudde mu disitulikiti okuli Ajumani, Koboko, Zombo, Terego newalala.
No Comment