Poliisi ebakutte ku by’okwonoona ebintu
Apr 11, 2025
Poliisi e Lugazi ekutte abasajja basatu abagambibwa okulumba ekkolero erikola ebizimbisibwa omuli bbulooka ez’omusenyu ne buppeeva ne babyonoona ssaako okukoona ekizimbe ekibadde mu kifo kino.

NewVision Reporter
@NewVision
Poliisi e Lugazi ekutte abasajja basatu abagambibwa okulumba ekkolero erikola ebizimbisibwa omuli bbulooka ez’omusenyu ne buppeeva ne babyonoona ssaako okukoona ekizimbe ekibadde mu kifo kino.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Hellen Butoto yagambye nti, abakwate kuliko; Mugabe Bazini, Patrick Okwata ne Joseph Mwesigwa nga bano baakwatiddwa ne gguleeda eyakozeseddwa okusenda n’okwonoona ebintu.
Bino byabadde ku kyalo Kisaasi ekisangibwa mu muluka gw’e Bulyanteete mu munisipaali y’e Lugazi. Butoto yagambye nti, okusitukiramu kyaddiridde omutuuze Shaban Ntanda okwekubira enduulu ku poliisi ng’agamba nti, ebintu bye ebibalirirwamu obukadde 600 n’okusoba byabadde byonooneddwa.
Ntanda olunwe yalusonze mu Dr. David Kabasa gwe bagugulana naye ku ttaka ye ly’aliko nga ow’ekibanja nga n’ensonga ziri mu kkooti.
No Comment