Owa ttulafiki eyatizetize omukazi gwe yayimirizza ku kkubo asuze Luzira

Apr 14, 2025

OMUSERIKALE wa tulafiki agambibwa okugezaako okukabassanya omukazi asindikiddwa ku limanda e Luzira.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUSERIKALE wa tulafiki agambibwa okugezaako okukabassanya omukazi asindikiddwa ku limanda e Luzira.

SGT Richard Kasule 39 okuva ku poliisi ya SPC y’agambibwa okutigaatiga omukazi n'ekigenderwa oky'okumukabassanya era asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road n'amusomera omusango gwe yeegaanye.

 

Empaaba ya kkooti kigambibwa nti zaali ziwera ssawa 1:00 ey’akawungeezi, Grace Nakimuli eritali linnya lye yali avuga emmotoka ku luguudo lwa Fairway mu Kampala we yasisinkanira omuserikale wa poliisi eyamuyimiriza.

Ono yamugamba nga bw’avuze obubi ku luguudo nti era yali awetedde w’atalina kuwetera, Nakimuli mu kugezaako okwetonda omuserikale yamutegeeza nga bw’amusonyiye wabula amufunireyo emitwalo 10 ye kwe kumugamba nga bwe yali tazirina era n'amusaba akkirize emitwalo ebiri gye yalina ku ssimu.

Ng’amaze okumuwa ssente yamusaba ppamiti ye, mu kifo ky'okugimuddiza yayingira emmotoka n'amuddiza ssente ze nga bw’amugamba nti abakyala nga ye beetaaga abasajja nga bbo abakola mu poliisi nga w’afunidde obuzibu ajja n'amutaasa.

Bino byonna okubikola ng’amukwatirira ku bisambi ppaka mu bukyala era mu kwerwanako yamutegeeza nga bwe yali mu nsonga z’ekikyala wabula yamulemerako nga bw’amukwatirira amabeere nga kw’otadde n'okumutiisatiisa amuwe ennamba y'essimu kw’anamufuniranga.

Mu kwerwanako yasimbula emmotoka ng’anoonya w’anaafunira obuyambi Kasule n'abiteekamu akasunguyira n'amugamba okusiba emmotoka amusomere ennamba ye ey’essimu.

Nakimuli yategezaako mukulu we ebyali bimutuuseeko ku luguudo amangu ago yagenda ne bazadde be ku CPS ne baggulawo omusango Kasule n'akwatibwa.

Bino byonna byatuukawo nga March 30, 2025 ku luguudo lwa golf course mu Kampala Kasule bwe yagezaako okukaka omukazi akaboozi.

Omuwaabi wa gavumenti, Ivan Kyazze yategeezezza kkooti ng’okunoonyereza ku musango guno bw ekukyagenda mu maaso n'asaba kkooti ebawe olunaku okudda mu kkooti okumanya okunoonyereza we kunaaba kutuuse.

Wano omulamuzi Ronald Kayizzi we yasinzidde n'asindika Kasule mu kkomera e Luzira okutuusa nga April 28, 2025.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});