BUIKWE: RDC ayise abatuuze mu lukiiko lwa minisita Mayanja
Apr 15, 2025
RDC w’e Buikwe Maj. (Rtd) David Matovu alaze emivuyo gy’ettaka gy’asanzeeyo mu myezi ebiri gye yaakamalayo n’akunga abantu bonna okwetaba mu musomo gw’ebyettaka ogwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Dr Sam Mayanja enkya ku Lwokusatu

NewVision Reporter
@NewVision
RDC w’e Buikwe Maj. (Rtd) David Matovu alaze emivuyo gy’ettaka gy’asanzeeyo mu myezi ebiri gye yaakamalayo n’akunga abantu bonna okwetaba mu musomo gw’ebyettaka ogwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Dr Sam Mayanja enkya ku Lwokusatu. Maj. Matovu eyakyadde ku Pulogulaamu Tukyogereko ebeera ku Bukedde TV1 ng’ali wamu n’akwataganya abantu ba bulijjo ne poliisi mu Lugazi, ASP Sharif
Kibikke, yagambye nti ekibbattaka kye kizibu ekisinga obunene ekyekiise mu nkulaakulana n’ebyokwerinda bya Buikwe.
“RDC eyavaawo bwe yali ankwasa lipooti nga January 13, 2025 nakizuula nti ebizibu
ebisinga mu kitundu biva ku ntalo za ttaka kwe kusalawo mbeeko engeri gye nkikwatamu.
Nasalawo okutuukirira buli ofiisi ekwatibwako twegatte wamu tutaase abantu abagwang’ana mu malaka olw’ettaka. Tubaddetutuuza enkiiko ku miruka nga
tusomesa abantu ku mateeka g’ebyettaka okutuusa lwe tufunye omukisa okukyaza Minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja ayongere okulung’amya
nga tuli wamu n’abakugu bonna abakwatibwako.” Maj Matovu bwe yagambye.
Yagambye nti ku bizibu bye yaakazuula e Buikwe kwe kuli
abeng’anda abatunda bannaabwe nga bafuuse abakuza, abasika ssaako abeeyita abagagga abava eri ne bawamba ettaka nti baagula. Mu birala mulimu ebiragiro
bya kkooti ebigoba abantu ku ttaka, bye yagambye nti bwe kijja asooka kutuuza lukiiko lwa byakwerinda olwa Disitulikiti ne bakitunulamu, abettaka ababadde babbira mu kulamba ensalo ate ne bakendeeza ku bibanja by’abantu nti babawe ebyapa n’ebirala. ASP Kibikke yakoowodde abantu b’omu Buikwe n’emiriraano okujja beetabe mu ukiiko lw’ebyettaka olunaatuula enkya ku kitebe kya Nkokonjeru Town Council ku ssaawa 3:00 ez’oku makya bajje bayige ebyettaka n’okumanya aw’okuddukira singa
baba balumbiddwa ababbi.
Bano baabadde bakyaziddwa omuweereza Siraje Kizito owa Bukedde TV.
No Comment