Abattakisi e Mpereerwe beggyiddeyo ebiso lwa ppaaka
Apr 15, 2025
EBISO bivuddeyo ng’abattakisi balwanira ppaaka y’e Mpereerwe, eriko enkaayana wakati wa bannannyini ttaka, ne baddereeva.

NewVision Reporter
@NewVision
EBISO bivuddeyo ng’abattakisi balwanira ppaaka y’e Mpereerwe, eriko enkaayana wakati wa bannannyini ttaka, ne baddereeva.
Ppaaka eno esangibwa e Mpereerwe ku kidda e Nammere – Lusanja, ezze ebeerako okusika omuguwa nga baddereeva balumiriza nnannyini ttaka paaka eno we yali, ate okwagala okubazzaayo ku ttaka lye gye baava ku kifuba.
Eggulo ku makya baddereeva baalumbiddwa ekibinja ky’abavubuka abaabadde babagalidde emiggo n’ejjambiya, nga baagala okubasengula ku kifuba, kyokka ne baddereeva ne bafunvubira ne wabaawo okugwangana mu malaka okutuusa baddereeva bwe baasinzizza amaanyi ne bafuumuula abaabadde babalumbye.
Omu ku baddukanya paaka eno, Ddiriisa Kabangala yannyonnyodde nti nnannyini ttaka we baasooka okuteeka ppaaka yali abasaba emitwalo 35 bul lunaku ez’obupangisa, wabula ne zibalemerera, era n’awandiika ebbaluwa ng’abagoba mu paaka ye, ekintu kye baakola.
Baafuna ettaka ew’omugagga omulala, eryali lisalagana ne landiroodi eyasooka, era ye n’abasaba emitwalo 20 buli lunaku ze bakkiriza era ne batandika okukola.
Wabula landiroodi eyasooka yagezaako okwagala okubasiguukulula ku kifuba baddeyo mu ttaka lye, era baafunye amawulire nti baalidde obukadde busatu okusobola okubasengula baddeyo, kye bataasobola kukkiriza.
No Comment