Abavubi basse omujaasi abadde abakutte ku by'envuba embi omulambo gwe ne bagunnyika mu mazzise
Apr 18, 2025
Omu ku bajaasi abalwanyisa envuba embi ku nnyanja, attiddwa mu bukambwe, omulambo gwe, ne bagunnyika mu mazzi ne babulawo.

NewVision Reporter
@NewVision
Omu ku bajaasi abalwanyisa envuba embi ku nnyanja, attiddwa mu bukambwe, omulambo gwe, ne bagunnyika mu mazzi ne babulawo.
Attiddwa, ye Private Bedwin Mugisha bw'abadde aliko abavubi babiri b'akutte mu bikwekweto by'okulwanyisa envuba embi ku Lake Kyoga.
Omwogezi w'ekibinja ky'amagye ekirwanyisa envuba embi, Reuben Ndifuna , ategeezezza nti ono, yabaddeko abavubi be yabadde akutte nti omu ku bbo n'amukuba ekintu ku mutwe nti n'oluvannyuma ne bamukasuka mu nnyanja.
Ayongeddeko nti , baasobodde okuzuula omulambo gw'omujaasi ono, era nga mu kiseera kino, bali mu kuyigga abavubi ababadde emabega w'ekikolwa kino, ky'avumiridde .
No Comment