Minisita ayimirizzaabagaba liizi n’ebyapa ku ttaka eririko abantu

Apr 19, 2025

MINISITA w’eby’ettaka, Dr. Sam Mayanja aweze mbagirawo abakulira obukiiko bw’ettaka ku disitulikiti okugaba liizi oba ebyapa ku ttaka lya gavumenti eririko abatuuze n’agamba nti, anaakikola wa kuvunaanibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITA w’eby’ettaka, Dr. Sam Mayanja aweze mbagirawo abakulira obukiiko bw’ettaka ku disitulikiti okugaba liizi oba ebyapa ku ttaka lya gavumenti eririko abatuuze n’agamba nti, anaakikola wa kuvunaanibwa.
Yagasseeko nti, ebyapa byonna ne liizi ebyakolebwa ku ttaka eririko abatuuze nga tebaweereddwa mukisa (abatuuze) liizi ezo n’ebyapa bifu era yalagidde bisazibwemu.
Okwogera bino, yabadde mu lukung’aana lwe yakubye mu luggya lwa ofiisi ya Nkokonjeru Town Council mu disitulikiti y’e Buikwe bwe yabadde asomesa abatuuze n’abakulembeze ku mateeka g’ettaka n’ebiragiro bya Pulezidenti Museveni by’azze ayisa ku w’ekibanja n’ettaka okusobola okutaasa abantu abagobwa ku ttaka okuli n’erya gavumenti kwe bamaze emyaka.
Yawadde amagezi ab’obukiiko bw’ettaka nti, bwe wabaawo omuntu asabye ettaka ly’azudde nga teririiko kyapa agende ku kyalo ayogere n’aba LC bonna, afune ebbaluwa ya Ssentebe w’eggombolola, agende ku disitulikiti aweeyo okusaba kwe. Olukiiko lwa disitulikiti olw’ebyokwerinda olukulirwa RDC, lusituke lugende lulabe oba ettaka ly’asabye tekuli bantu.
Wabula bwe kizuulibwa nti, kuliko abantu abaagula ebibanja, baazimbako amayumba, balimirako emmere, olwo bategeeze abaliriko mu lukiiko lw’ekyalo era abaliriko basooke kulaga nti, tebalyagala olwo liryoke liweebwe oyo abeera alisabye.
Wabula alina ekibanja ku ttaka bwe kizuulibwa nti, yabadde tategeezeddwa mu butongole nti, ettaka kw’ali waliwo abaalizudde nti, teririna kyapa, olwo omukisa gumuweebwe asabe ettaka eryo era mu mateeka limuweebwe, kasita atuukiriza ebisaanyizo kuba omukisa ogusooka gulina kuba gugwe.
MUGGYE KABAKA MU MIVUYO GY’ETTAKA
Minisita Mayanja yakkaatirizza nti, abantu bangi babonyeebonye n’ebibanja ku ttaka era tulina okwawula obwannannyini bw’ettaka, Buganda Land Board Ltd ne Kabaka. Abantu bayingiza Ssaabasajja mu by’ettaka so nga ebibiri bya njawulo.
Okuva mu 1900 nga waliwo ettaka lya Daudi Chwa, Kabaka eyaliwo era okusinziira ku biwandiiko bye twazudde e Ntebe, Kabaka Daudi Chwa alina Sq. miles 260 mu kyapa kye nasomye okuva mu tterekero e London. Yagaba Sq. miles 137 kati wakyaliwo ezitannagabwa.
Wano e Kyaggwe alinawo Sq. miles 150, ebyo byonna biri muEstate ya Daudi Chwa, nga ne Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi naye mwaali. Ebyo byabwe naye Buganda Land Board ya njawulo.
Buganda yali yagabanyizibwaamu ebitundu bibiri, Omuzungu n’atwala erirye lye yayita Crown land erya Kabaka wa Bungereza.
Okusooka olukiiko lwa Uganda Land Commission lwe lwali lulabirira ettaka eryo ne wajja etteeka eriggyayo ettaka ne lidda ku disitulikiti, olwaleero ze zirabirira ettaka eryali Crown ne lifuuka Public ku lwa gavumenti. Ku ttaka ly’obwakabaka waatandikibwawo ekitongole kya Buganda Land Board okulirabirira.
Ettaka ly’obwannannyini ery’obufuzi obw’ensikirano teryakwatibwako mu 1962. Ebyogerwa nti, lyawambibwa bikyamu. Soma akawaayiro 126 aka Ssemateeka wa 1967 kagamba bulungi nti: Mayiro esigaddewo mu disitulikiti wonna mweriri okugeza; mu disitulikiti eya Bunyoro, Masaka, Mubende, East ne West Mengo wadde nga Amin yali aliggyeewo mu 1975, naye Ssaabalwaanyi Museven n’alizzaayo ebyo bye bimu ku byafaayo.
Mbawandiikidde akatabo ka miko 20 akalaga nti, BLB terina ttaka nga bwe nzize nkyogera. Mbakoledde akatabo akalaga ow’ekibanja bw’afuna ekyapa ku kibanja kye.
Mugende musabe ebyapa ku ttaka kwemuli nga lya gavumenti teri abakuba ku mukono ate baakulibawa.
Abalala abaayogeredde mu lukiiko luno ye, Minisita Diana Mutasingwa, omubaka omukyala owa Buikwe eyagambye nti, abakulembeze mu Buikwe beesamba nnyo ensonga z’ettaka nga kino kye kikyalemesezzaawo enkaayana zino.
RDC Maj. David Matovu, yagambye nti, ensonga z’ettaka bazizzizza ku byalo ne bazikwasa olukiiko lwa LC, nga kati omuntu asabye ekyapa balina okusituka bonna mu ofiisi n’abakakiiko k’ebyokwerinda bagende ku kyalo bafune ebirowoozo by’abatuuze abali ku ttaka eryo erisabwa n’okukakasa nti, alisaba mutuuze wa ku kyalo ekyo.
Ate omuyambi wa RDC e Buikwe, Isaac Walugembe yagambye nti, ekizibu ekiri mu kitundu kireetebwa omuntu omu ate ng’amanyi ekituufu. Yagasseeko nti, ensonga yabadde esobola okugonjoolwa awatali kuyita minisita wadde abakulu abalala mu by’ettaka kubanga buli omu amanyi ekituufu.
“Omuntu omu ayagala okubuzaabuza abantu ng’agamba nti, ettaka eryo lya Buganda Land Board n’atuuka n’okugobako ab’ebibanja kyokka ng’akimanyi nti, ettaka lya Gavumenti, era emitendera egirina okuyitibwamu okufuna ebyapa ku ttaka lino gimanyiddwa,” Walugembe bwe yakkaatirizza ku mivuyo gy’ettaka egimaze ebbanga mu kitundu kino.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});