Bbaasi eyabise omupiira yeefudde emirundi n'etta 2 e Kyegegwa!

Apr 21, 2025

ABANTU babiri bafiiriddewo n'abalala 12 ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bafunye ebisago eby'amaanyi mu kabenje akagudde e Biwanga ku luguudo oluva e Mubende okudda e Kyegeegwa.Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro ly'e Mubende okufuna obujjanjabi

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU babiri bafiiriddewo n'abalala 12 ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bafunye ebisago eby'amaanyi mu kabenje akagudde e Biwanga ku luguudo oluva e Mubende okudda e Kyegeegwa.

 

 Akabanje, kabaddemu bbaasi Isuzu nnamba UBR 796 N eya kkampuni ya Pokopoko bw'eyabise omupiira n'egwa ne yeefuula emirundi, n'etta abasaabaze babiri okuli omukyala atannategeerekeka bimukwatako n'omwana omuto omuwala.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro ly'e Mubende okufuna obujjanjabi era n'asaba ab'ebidduka, okwetegereza ennyo emipiira gye bassa ku mmotoka zaabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});