Ebyabadde mu kusaba kw’Abalokole mu makanisa ag’enjawulo

Apr 21, 2025

AKULIRA amakanisa ga Victory Church mu ggwanga, Dr. Joseph Sserwadda, asoomoozezza Bannaddiini nti, bakomye okwekkiriranya wabula boogere ebirumaeggwanga nga tebeetiiriridde.

NewVision Reporter
@NewVision

AKULIRA amakanisa ga Victory Church mu ggwanga, Dr. Joseph Sserwadda, asoomoozezza Bannaddiini nti, bakomye okwekkiriranya wabula boogere ebiruma
eggwanga nga tebeetiiriridde.
Bino Dr. Sserwadda abyogeredde ku kkanisa ya Victory Church mu Ndeeba bwe yagambye nti, kino si ky’ekiseeraky’okusirika ng’ebintu bingi binyigiriza Bannayuganda, ate nga n’abalina okutereeza embeera weebali kyokka nga beesuuliddeyo gwa nnaggamba.  Ono mu ngeri y’emu yakuutidde Bannayuganda okusigala nga balina essuubi nti, amaanyi agaazuukiza Yesu gakyaliwo ne leero era gajja kubayisa mu buli mbeera ebanyigiriza, kasita beekwasa Katonda n’omutima gwabwe  gwonna.
MINISITA MAYANJA ALABUDDE KU KIBBATTAKA
Ku kkanisa ya Gospel Messengers’ of Holiness & Righteousness e Makindye,
okusaba kwakulembeddwaamu musumba w’ekkanisa eno Rev. Moses Mbuga Ssemmanda, eyakubirizza  Abakristaayo okusonyiwagana ngawaliwo asobezza munne, nga Yesu Kristo bwe yasonyiwa abaamukomerera  ku musaalaba.
Mu kkanisa eno, ne minisita omubeezi Pr. Kayanja (ku kkono) ng’asabira omukadde. ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja gye yasabidde era yakubirizza abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuva ku byalo okutuuka waggulu okwenyigira mu lutalo olw’okulwanyisa ekibbattaka Bannayuganda bonna basobole okubeera mu mirembe.
Kyokka minisita Mayanja yabotodde ekyama nti, emivuyo gy’ettaka okusinga gireeteddwa Bassentebe b’ebyalo,  abaduumizi ba poliisi ku mitendera egy’enjawulo naddala ba DPC, ba RDC n’abalala abagwa mu kkowe eryo, nga bano beekobaana n’abagagga ne batulugunya abanaku ekintu ekikyamu. Bano yabasabye okukozesa ekiseera kino ekya Paasika okwezza obuggya era bave mu muze guno. Kyokka yabalabudde nti, bwe bataakikomye, Gavumenti ejja kubakwatako n’omukono ogw’ekyuma

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});