Mukuume emirembe mu kulonda kwa 2026 - Ssaabasumba Muzeeyi
Apr 21, 2025
SSAABASUMBA w’Abasodokisi, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi, asabye abantu okukwatagana bakuume emirembe mu kulonda okubindabinda mu 2026 kuggwebulungi awatali busambattuko n’okuyiwa omusaayi we yabadde akulembeddemu

NewVision Reporter
@NewVision
SSAABASUMBA w’Abasodokisi, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi, asabye abantu okukwatagana bakuume emirembe mu kulonda okubindabinda mu 2026 kuggwe
bulungi awatali busambattuko n’okuyiwa omusaayi we yabadde akulembeddemu
okusaba kw’Amazuukira mu Eklesia ya St. Nicholas e Namungoona, Ssaabasumba Muzeeyi yagambye nti, ebbugumu n’okuvuganya byeyongedde nga buli omu alwana
okulaba nga yasinga ku munne, wabula kino kirina kukolebwa wakati mu kukuuma emirembe. “Eggwanga lyetegekera okulonda abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, wabula tusaba kubeere kwa mirembe kuba bangi beesowoddeyo okuvuganya naye ebifo bye baagala okwesimbako bitono. Tusaba nti, ekiseera bwe kiba kit use wabeewo obukkakkamu tukuyitemu mu mirembe, tuleme kufuna busambattuko”, Ssaabasumba Muzeeyi bwe yasabye. Yagambye nti, okusoomooza okuliwo kwekuba nti, ebifo bitono wabula abaagala okuweeerza be bangi n’asaba abalonzi okulondako abantu abasingak obulungi abajja okubaweereza. Ate n’abawanguddwa bagwanidde okukwatagana n’abo ababamezze emirimu gitambule bulungi.
Yategezezza nti, Uganda eri ensi emu omuli abantu abangi, ng’emirembe bwe ginaggwaawo mu kulonda abantu bajj kusaasaana n’okubundabunda olw’obusambattuko obusobola okumalibwawo, singa okulonda kubeera kwa mirembe
n’abawanguddwa ne beewala okuleeta emitawaana, eggwanga lisigalewo mu butembenkevu.
No Comment