KCCA ESINZIDDE KU UGANDA CUP;Efunye essuubi ly’ekikopo

Apr 21, 2025

ABAWAGIZI ba KCCA FC baayise mu Paasika nga basanyufu bya nsusso oluvannyuma lwa ttiimu yaabwe  okwesogga semi y’empaka za StanbicUganda Cup. Ku Lwomukaaga, baalumbye Kaaro Karungi omwayo e Kyamate mu disitulikiti y’e Ntungamo ne bagikubirayo (2-1) ne bafuna ku ssanyu erisookabukya bagoba mutendesi Abdallah Mubiru.

NewVision Reporter
@NewVision

Kaaro Karungi 1-2 KCCA
ABAWAGIZI ba KCCA FC baayise mu Paasika nga basanyufu bya nsusso oluvannyuma lwa ttiimu yaabwe  okwesogga semi y’empaka za Stanbic
Uganda Cup. Ku Lwomukaaga, baalumbye Kaaro Karungi omwayo e Kyamate mu disitulikiti y’e Ntungamo ne bagikubirayo (2-1) ne bafuna ku ssanyu erisooka
bukya bagoba mutendesi Abdallah Mubiru.
Ttiimu eno etendekebwa, Jackson Magera ng’oweekiseera. Agamba nti omupiira guno gwabakaluubirizza nnyo olwa nnamutikkwa w’enkuba eyafundembye kuba
abazannyi be tebasobola kuzannyira mu mbeera bw’etyo. KCCA ebadd yaakazannya emipiira gya liigi ebiri nga gyombi bagikuba. Yakubwa URA (1-0) ne BUL (2-0).
Ggoolo za KCCA zaateebeddwa Derrick Nsibambi ne Usama Arafat ate eya Kaaro Karungi n’eteebwa Clinton Kamugisha.
“Twazannye bulungi naye omupiira gwatutabukidde mu kitundu ekyokubiri g’enkuba ettonye. Twalwanaganye n’abazannyi baffe abataamanyiiram kuzannyira mu bisooto okutuusa lwe baamanyidde ne tuwangula”, Magera bwe yategeezezza. Yalagidde abazannyi obutacamuukirira lwa kuwandula Kaaro Karungi kuba bakyalina olugendo uwanvu okuwangula ekikopo kino kye basigazizza kyokka okulwanira
sizoni eno. Mu ngeri y’emu, yasabye n’abawagizi obutalekerera ttiimu yaabwe nti Roma tebaagizimbira mu lunaku lumu. “Singa tugenda bwetuti tusobola okuwangula ekikopo kuba buli omu yalaze obumalirivu ku kye yabadde alina okukola,” Magera bwe
yayongeddeko. Omupiira guno gwayimiridde okumala ekiseera olwa nnamutikkwa  w’enkuba eyafudembye mu kisaawe ekyawalirizza ddiifiri okuguyimiriza.
KCCA ekomawo mu nsiike ku Lwomukaaga ng’ekyazizza Mbarara City mu liigi ya babinywera e Lugogo. Mu liigi, KCCA yaamusanvu ku ttiimu 16.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});