Abakulembeze bye bamwogeddeko
Apr 22, 2025
Kalidinaali Emmanuel Wamala y’akulembedde bannaddiini okuweereza obubaka obukungubagira Paapa Francis.

NewVision Reporter
@NewVision
Kalidinaali Emmanuel Wamala y’akulembedde bannaddiini okuweereza obubaka obukungubagira Paapa Francis.
Yagambye: Paapa Francis Omukama amuyise okuva mu bulamu bw’ensi eno! Nga bwentera okukidding’ana nga twesanze mu mbeera bweti; Atwesooseeyo bwesoosi kubanga ffenna gye tulaga. Twebaza Katonda olwa byonna by’asosobozeszza Paapa
Francis okukola mu Eklezia.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere; Ku Ssande twakuzizza bulungi amazuukira ga Kristu nga tumaze n’okufuna obubaka bwa Paapa. Kya nnaku okufuna amawulire g’okufa kwa
Paapa okuva ew’omubaka wa Paapa mu Uganda Nucio Luingi Bianco.
Kyannaku nnyo naye twesiga nti agenze ewa Katonda we gw’abadde aweereza ate agendedde mu budde bwennyini mwe tujaguliza okuzuukira kwa Mukama waffe Yezu Kristu.
Ssabalabirizi w’Ekkanisa yaUganda Dr. Stephe Kaziimba Mugalu: Ng’ekkanisa ya Uganda tufunye amawulire g’okugenda kwa muganda waffe era omuweereza munnaffe. Twasisinkana naye eNamugongo ne tubeera naye, tuwulira okusaalirwa engeri gy’agenze amangu,mu kiseera wetubadde tusuubira nti omukama amujjanjabye.
Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja; Yamwogeddeko ng’abadde omusajja omuwombeefu, eddoboozi ly’emirembe n’eddembe mu nsi yonna, agumikiriza
embeera z’abalala era omutabaganya.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga;
Yamwogeddeko ng’Omusumba o’emirembe, ow’okusaasira era
ow’obwetoowaze. Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda,ntuusa okusaasira eri Abakatoliki okwetooloola ensi n’eri abaagazi b’emirembe mu nsi. Ebirala ku Paapa Francis omuli
likodi z’akoze birinde mu Bukedde w’Olwokusatu
No Comment