OMUSUMBA w’essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa asabye bannaLuweero okwejjako omuze gw’okweraguza n’okulowooleza mu mayembe kuba bikolwa bya sitaani ate bibazza emabega.
Asinzidde mu kusaba kwa paasika mu lutikko e Kasana ne yennyamira olw’amasabo agatutumuka buli kitundu e Luweero ekiraga nti abantu bakyalowooleza obulamu mu bafu.
Ate ku lutikko y’omutukuvu makko e Luweero okusba kukulembeddwa omulabirizi Wilson Kisekka nga ono asabye abantu okwekwata ku kristu agyewo ebizibu ebibazimbyeko akayumba omuli endwadde obwavu, obukyayi ettema n’ebirala.
Asabye abantu okukuuma obutonde nga beewala okusaanyaawo emitim okusenga muntobozzi, okumansa obuveera n’okwokya empiira.