Amawulire

Omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze gwokezza ennyumba omupangisa n'alumizibwa

Omuntu omu alumiziddwa byansusso mu muliro ogukutte ennyumba mwe babeera e Kabale.

Omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze gwokezza ennyumba omupangisa n'alumizibwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuntu omu alumiziddwa byansusso mu muliro ogukutte ennyumba mwe babeera e Kabale.

Bibadde mu zzooni ya Kekubo cell mu muluka gw'e Kirigime Southern Diviizoni e Kabale  omuliro bwe gwokezza ekisenge ekimu ne gukosa omu ku bapangisa.

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti kivudde ku nyingiza y'amasannyalaze embi.

Tags:
Muliro
Mupangisa
Kwokya
Nnyumba
Masannyalaze