Amawulire

Omukazi omufumbo yeekumyeko omuliro n'asiriira ng'ateeberezza bba okumugattako muggya we

WABADDEWO akasattiro, omukazi omufumbo bwe yeesibidde mu nnyumba n'agikumako omuliro n'abengeya oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne bba.

Omukazi omufumbo yeekumyeko omuliro n'asiriira ng'ateeberezza bba okumugattako muggya we
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

WABADDEWO akasattiro, omukazi omufumbo bwe yeesibidde mu nnyumba n'agikumako omuliro n'abengeya oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne bba.

Kigambibwa nti asoose kuweereza muwala we ow'emyaka ena , mu bazadde e Muduuma Mpigi olwo ne yeesibira mu nnyumba ne yeekumako omuliro ng'agamba nti bba abadde amugoba awaka asobole okukomyawo omukazi eyasooka.

Bibadde ku kyalo Kasiba mu muluka gw'e Kiwawu mu ggombolola y'e Malangala e Mityana, Irene Nakagulire 23, bwe yeekolezezzaako omuliro n'afuuka bisiiriza mu nnyumba.

Kitegeezeddwa nti basoose kufuna butakkaanya ne bba Henry Zirigwa era nga baliriraanwa be be baalabye omuliro ne batemya ku ssentebe wa LC1 Baker Ssekasi n'ayita poliisi y'e Kiwawu.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti nnyina w'omulenzi Margaret Nannyonjo, yafunye essimu nga mutabani we yeemulugunya ku mukyala we gw'abadde yaakamala naye emyezi omukaaga, olw'okunywa taaba n'omwenge n'agangayira.

Tags:
Amawulire
Mukazi
Mufumbo
Muliro
Kubengeya
Bba
Kugattako