Eyavuganya Nalukoola ayagala kya meeya;Abalala 7 beesowoddeyo zaabike emipiira

Apr 23, 2025

MUNNA NUP, Umar Magala, eyavuganya ne Luyimbazi Nalukoola ku kkaadi y’obubaka bwa Kawempe North alangiridde bw’agenda okuvuganya ku bwammeeya bw’e Kawempe n’akalubya ekibalo kya Sserunjogi ne Latif Ssebaggala.

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNA NUP, Umar Magala, eyavuganya ne Luyimbazi Nalukoola ku kkaadi y’obubaka bwa Kawempe North alangiridde bw’agenda okuvuganya ku bwammeeya bw’e Kawempe n’akalubya ekibalo kya Sserunjogi ne Latif Ssebaggala.
Magala yategeezezza Bukedde nti yavudde ku kifo ky’obubaka basobole okuwa Nalukoola obudde obuweereza abantu. Mu kiseera kino obwanga abwolekezza kifo kya mmeeya oluvannyuma lw’okutuukirirwa abantu abawerako ne bamumatiza ate nga naye alaba alina obusobozi.
Yagambye alina obukakafu nti ekibiina kijja kumuwa kaadi kuba yekka y’asobola okubaleeterawo enjawulo ng’akola ku bizibu byabwe nga okukola ku myala, ebbula ly’emirimu, amakubo amabi n’ebirala. Alina diguli mu busomesa.
Okujja kwa Magala kutabudde enkambi ya meeya aliko, Emmanuel Sserunjogi ‘Oweddembe’ n’eya Latif Ssebaggala, abaalaga edda nga bwe baagala ekifo.
Sserunjogi yagambye abeegwanyiza ekifo kino bandibadde banoonya ebifo ebirala kuba alina obukakafu nti alina emikisa 99 ku 100 egy’ekibiina kya NUP okumuddiza kaadi olwo abalonzi balyoke bamuyiire obululu.
Yagambye nti by’akoze birabika okuli; okukola amakubo, emyala gizimbiddwa ng’eky’ebitaala ku nguudo kw’atandikira mu kisanja ekiddako.
Eyaliko omubaka wa Kawempe North, Latif Ssebaggala yagambye nti waakwesimba ku bwameeya bw’e Kawempe mu 2026. Okujja kwa Magala yagambye nti tekumutiisizza kuba akkiriza nti NUP egenda kumuwa kaadi era abawangule bonna.
Yagasseeko nti ebizibu bya Bannakawempe byonna abimanyi era olumala okuyingira ofiisi agenda kukwata kimu ku kimu babeere mu Kawempe empya eteriimu kwesosola mu mawanga, eddiini, ebyobufuzi era nga buli kimu kikolebwa mu budde.
Abalala abaagala kaadi ya NUP kuliko; Hajji Juma Wasswa, eyali mu NRM n’akyuka. Yagambye nti ku baagala kaadi talina gw’atya kuba okulonda kwa 2021 yakulimu n’avuganya ku kifo kye kimu n’akwata kyakubiri. Bw’anaabeera ne kaadi ya NUP akakasa ng’ajja kuyisa mukka mu kisero.
Denis Ssenabulya naye ayagala kaadi ya NUP ng’ekimuleese kusitula mbeera za bavubuka bafune emirimu, n’okukendeeza ku kizibu ky’amataba mu kitundu.
ABAAGALA KAADI YA NRM BALI 3
lMunnamateeka Hasib Saami Kabuye Takuba 30, mutabani wa Dr. Hasib Kabuye Takuba, eyaliko omumyuka wa Mmeeya wa Kampala ku mulembe gwa John Ssebaana Kizito. Takuba yagambye nti ye ssaawa abavubuka okubakwasa ku kintu era alina obukakafu nga NRM egenda kumuwa kaadi. Ayagala kussaawo enkolagana ennungi ne KCCA nga si bya kukolera mu mbeera y’okusika omuguwa abalonzi basobole okufunamu.
lHajji Ibrahim Kamihanda 52, eyaliko omumyuka wa meeya w’e Kawempe (2016-2021) era n’abeerako kkansala w’omuluka gw’e Wandegeya yagambye nti y’asinga obumanyirivu n’obusobozi ku baagala kaadi ya NRM.
lFarouk Bulime naye wa NRM ng’ekimuleese si kulwana byabufuzi naye ayagala Kawempe egendeko mu byafaayo ng’erina amataala ku nguudo, ebbula ly’emirimu liggweewo ng’akozesa emikwano emingi gy’alina mu ggwanga n’ama- wanga g’ebweru.
FDC EREESE
Ssaalongo Suzalio Mbwatekamwa 52, owa FDC yategeezezza nti ekibiina kye kyamusindise yeesimbewo kuba bamulabamu obusobozi obuwangula ekifo ekifo.
Ebbanga ly’amaze mu Kawempe agamba amanyi ebizibu by’abantu era ku bonna abeegwanyiza obwammeeya talabako amwenkana mu kutegeera bizibu bya kitundu n’obusobozi bw’okukola ku bizibu ebyo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});