Sipiika Among alondeddwa okukulembera abagenda okukungubagira paapa e Vatican

Apr 23, 2025

Bino bitegeezeddwa amyuka ssentebe wa NRM mu buvanjuba, Capt. Mike Mukula mu nsisinkano gy’abaddemu ne sipiika Among wamu ne bassentebe ba NRM okuva mu zi disitulikiti okwetooloola eggwanga ku palamenti.

NewVision Reporter
@NewVision

SIPIIKA wa palamenti Anita Among waakukulemberamu abakungu okuva mu Uganda okugenda okukungubagira paapa Francis e Vatican.

Bino bitegeezeddwa amyuka ssentebe wa NRM mu buvanjuba, Capt. Mike Mukula mu nsisinkano gy’abaddemu ne sipiika Among wamu ne bassentebe ba NRM okuva mu zi disitulikiti okwetooloola eggwanga ku palamenti.

Wano Sipiika Ng'asisinkanye Bassente Ba Nrm

Wano Sipiika Ng'asisinkanye Bassente Ba Nrm

Mukula agambye nti okusinzira ku bbaluwa pulezidenti Museveni gye yafunye okuva e Vatican, baasabye sipiika okubeera kw’abo abagenda okwetaba mu kukungubaga kubae abadde mukwano nnyo gwa paapa.

Mukula era yeebazizza nnyo pulezidenti Museveni olw’okukuuma obutebenkenvu mu ggwanga wamu n’amawanga ga Africa amalala agamba nti ono okukkiriza eggye lya UPDF okugenda okukuuma emirembe mu mawanga amalala kiraga nti akuumye eddembe mu mawanga nga South Sudan, DRC, Ethiopia, Central African Republic n’amalala.

Ye sipiika Among mu lukung’aana luno mw’asinzidde n’awera nga bw’agenda okwewaayo okukolera ekibiina kya NRM awatali kwejjusa naddala mu kadde kano ng’atunuulidde okwesimbawo ku ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM omukyala.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});