Katikkiro Mayiga awadde eby'okuyiga ku Paapa eri abakulembeze ba Uganda
Apr 24, 2025
OBWETOWAAZE Paapa Francis bwabadde nabwo bumwegombeza abantu bangi okwetoloola ensi yonna

NewVision Reporter
@NewVision
OBWETOWAAZE Paapa Francis bwabadde nabwo bumwegombeza abantu bangi okwetoloola ensi yonna.
Omu ku bantu abeegombye Paapa Francis olwa kino ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng'ajjukira olunaku olwa November 28,2015 lweyamusisinkana, era kino negyebuli eno akyakirojja.
Mayiga agamba nti asisinkanye abakulembeze bangi mu nsi yonna naye obwetowaaze bwa Paapa Francis bwamwewunyisa era n'okutuusa Leero, akyewunya engeri gyabadde awamu abantu ekitiibwa.
Bweyampa omukono nga Mulamula olwo ng'omuyambi we ng'amubuulidde nti Ono ye Katikkiro w'Obwakabaka bwa Buganda, eddiini kweyatandikira ng'oyinza okulowooza nti ye y'afunye omukisa okulamusa nze," Mayiga bweyanyumizza ku Paapa Francis eyavudde mu bulamu bwensi ku lwa Mmande April 21,2025.

Katikkiro ng'abuuza ku bantu
Mayiga yagambye nti yamwetegereza bulungi bweyajja kuno okuva nga November 27,2015. Ku lunaku olwo, Paapa yasisinkana abakulembeze abaayitibwa mu Maka g'Obwapulezidenti e Ntebe nga ne Katikkiro yali omu kwabo.
Mayiga era yali omu ku Baali e Namugongo ku biggwa by'abajjulizi lweyayimba Mmisa ku mukolo Kabaka Mutebi II ne Nnaabagereka kwebeetaba ate n'abeera ne Kabaka wamu ne Nnaabagereka bwebasisinkana Paapa mu Maka ga Ssabasumba e Lubaga ku lwa November 28,2015.
Oluvanyuma lw'okwetegereza bino ate n'okumulondoola okumala ebbanga bukya alya bukulu buno mu March 2013, Mayiga agamba nti abadde n'ebyokuyiga bingi eri abakulembeze nga basanye babitambulireko singa babeera baakutwala bitundu byebakulembera,mu maaso.
Katikkiro Mayiga agamba nti Paapa Francis abadde atabaganya nnyo abantu n'awa eky'okulabirako kyeyakola ku Pulezidenti wa South Sudan, Salva Kiir n'Omumyuka we Riek Machar n'atuuka n'okubanywegera ng'abasaba bakakkane, basse obutakkanya bwaabwe ebbali ku lw'eggwanga lyaabwe.
" Okutabaganya abantu, Paapa abadde mmo. Abakulembeze b'eddiini; Abasodokisi,Abapolotesitante, Abasiraamu bonna abadde atuula nabo. Abalabika nga bawabye ng'agamba nti mu bakwate mpola. Mu bulamu twanguwa nnyo okusalira abalala omusango. Lwaki twagala okukomerera abalala ku musalaba," Mayiga bweyagambye.

Katikkiro ng'awuubira ku bantu
Paapa, Mayiga eyabadde ayogera eri abantu okuva mu Masaza okuli Buddu,Ssingo ne Kyaggwe yagambye nti ayigiriza abantu obutabuguutana,obutapapirirapapirira,obutakayana ebitagwa ebyo kubanga emirundi mingi abantu bakola ensobi.
" Betutafananya nabo ndowooza oba nzikkiriza nabo bangi. Awo nno twemanyiize okutuula ku mmeeza emu, tunywe kaawa ava mu mmwaanyi gaffe zetwerimira nga bwetuwuliziganya. Tujja kufuna emirembe eginatusobozesa okugenda mu maaso," Mayiga bweyawabudde.
Mayiga yagambye nti ekitiibwa Paapa kyafunye okwetoloola ensi yonna, kivudde ku bwetowaaze bwabadde ayolesa.
Yagaseko nti Paapa abadde abeera mu bantu era ng'abaagala era Mayiga n'awabula nti omukwano guzaala Mukwano n'olwekyo Eno y'ensonga lwaki abantu babadde baagala nnyo Paapa Ono kubanga abadde abalambula n'okubabeeramu buli kiseera.
Paapa Francis abadde alambula ababundabunda n'abanyigirizibwa ng'ensonga zaabwe azitwala ng'ekikulu.
" Ffe abakulembeze twagala nnyo abantu batwagale. Tulinga abaagala okubakaka obukasi batwagale naye nga ffe tetubaagala. Embeera zaabwe tezikukwatako, tosanyuka nabo," Mayiga bweyawabudde abakulembeze.
Abantu abaakiise e Bulange -Mmengo baaleese obukadde 74 mu Luwalo nga ku zino aba CBS Pewosa Buddu Sacco baabaddeko n'obukadde 20.
Minisita Joseph Kawuki owa gavumenti ez'ebitundu yeebazizza abantu olw'okwenyigira mu mikolo gy'amazaalibwa ga Kabaka mu maanyi n'abasaba okugenda mu maaso nga bawagira enteekateeka z'Obwakabaka.
Related Articles
No Comment