Pulezidenti Museveni akungubagidde Paapa Francis

Apr 24, 2025

PULEZIDENTI Museveni atenderezza  Paapa Francis olw’omulimu gwe yakola ogw’okulwanirira emirembe n’obwenkanya ebiyambye abantu abangi.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni atenderezza  Paapa Francis olw’omulimu gwe yakola ogw’okulwanirira emirembe n’obwenkanya ebiyambye abantu abangi.
Mu bubaka bwe yaweerezza omukungu wa Vatican avunaanyizibwa ku nkolagana y’amawanga, Pietro Paroli, Museveni yagambye nti Paapa Francis waakujjukirwa
ng’omukulembeze w’eddiini ow’enjawulo assibwamu ennyo ekitiibwa ekyayamba Eklezia okubunyisa obuweereza mu nsi ejjudde okusoomoozebwa.
“Ku lwa Gavumenti ya Uganda, ku lwa Bannayuganda ne ku lwange ng’omuntu, ntuusa okusaasira kwange gy’oli era nga tuyita mu ggwe tukubagiza Eklezia Katolika mu  si yonna olw’okufiirwa Paapa,” bwe yategeezezza mu bbaluwa. Museveni yagambye nti eddoboozi lya Paapa mu kulwanirira emirembe, obwenkanya, obuntubulamu n’obwetoowaze kibadde kyakulabirako eri obukadde ’obukadde bw’abantu era ng’awa
essuubi eri abakkiriza. “Engeri gy’abadde akolagana n’abakkiriza okuva mu nzikiriza endala ng’Abasiraamu, Abasodookisi n’abalala kibadde kyongera okukakasa nti munnaddiini ddala abadde atambulira mu kisinde kya Yesu nga bwe yayigiriza mu  ugero lw’Omusamaliya omulungi, mu kitabo kya Lukka 10:29-37” Pulezidenti
bwe yagambye. Yagasseeko nti Paapa alese omukululo gw’omuntu abadde
n’okwagala, ayagala obumu n’obuweereza eri abantu ebijja okujjukirwa okumala ebbanga eddene.
Mu mbeera eno Uganda ekungubagira wamu n’Abakatoliki mu  ggwanga n’ensi yonna okutwaliza awamu mu kiseera kino ekyokukungubaga. Yasabye omwoyo gw’omugenzi Omukama aguwummuze mirembe

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});