Bannayuganda bakungubagidde Paapa
Apr 24, 2025
EKLEZIA mu ssaza ekkulu erya Kampala etangozza ekitabo ky’obubaka obukungubagira Paapa Francis n’esaba Abakristu okumusabira.

NewVision Reporter
@NewVision
EKLEZIA mu ssaza ekkulu erya Kampala etangozza ekitabo ky’obubaka obukungubagira Paapa Francis n’esaba Abakristu okumusabira.
Kyatongozeddwa Cansala w’Essaza ekkulu erya Kampala, Rev. Fr. Dr. Pius Male Ssentumbe ku wankaaki wa Lutikko e Lubaga era n’ayanjula enteekateeka z’okungubagira Paapa mu Eklezia mu Uganda.
Yategeezezza nti mu kiseera kino abantu baddembe okugenda e Lubaga okuteeka obubaka bwabwe mu kitabo kino. Ku Lwokutaano, omubaka wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luingi Bianco waakukulemberamu mmisa ey’okungubagira Paapa ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu.
KLEZIA TEGENDA KUSINDIKA BANTU MU KUZIIKA
Fr. Male yagamba nti Eklezia terina nteekateeka yaakusindika bantu mu kuziika olw’obufunda
bw’obudde obutabasobozesa kukola ku byetaagisa.
Yagambye nti Eklezia erina bannaddiini okuli abasaserdooti, n’Abaseminaliyo e Roma ssaako abakristu ababulijjo abanaagikirira mu kuziika kuno.
KCCA EWADDEYO AMAZZI G’ABAKUNGUBAZI
Abakungu n’abantu babulijjo eggulo (Lwakusatu) baasibye beeyiiwa ku Lutikko e Lubaga okungubagira Paapa nga bano bakulembeddwa abakungu ba KCCA okwabadde agikulira Hajjat Sharifa Bizeki, Loodi mmeeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago n’abalala.
Hajjati Buzeki yategeezezza nti KCCA egenda kuwaayo amazzi gonna aganaanywebwa abakungubazi ku Lwokutaano e Lubaga.
ABA VISION GROUP BAKUNGUBAGIDDE PAAPA
Kkampuni ya Vision Group nga yeegattiddwaako Abalabirizi okuva mu Bulabirizi omukaaga obwomu bukiika kkono bwa Uganda okuli; Bp.Godfrey Loum (Northern Uganda Diocese), Bp.Wilson Kitara (Kitgum), Bp. Pol.Alfred Olwa (Lango) ,BP.Pons Ozelle (Nebbi) ne Bp.Charles Collins Andaku ekungubagidde Paapa. Wateereddwaawo ekitabo ku ofiisi za Vision Group omuwandiikibwa obubaka bw’okukungubaga.
Buli muntu waddembe okuyita ku kitebe okuwandiika obubaka obukungubaga.
No Comment