Bobi asisinkanye aba NUP abaagala okwesimbawo n’awa ebiragiro

Apr 24, 2025

AKULIRA ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu atuuzizza Bannabyabufuzi  bateekateeka okwesimbawo ku kkaadi ya NUP mu 2026 mu bifo ebyenjawulo mukitundu kya Buganda n’abawa ebiragiro bye balina okutambulirako.

NewVision Reporter
@NewVision

AKULIRA ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu atuuzizza Bannabyabufuzi  bateekateeka okwesimbawo ku kkaadi ya NUP mu 2026 mu bifo ebyenjawulo mu
kitundu kya Buganda n’abawa ebiragiro bye balina okutambulirako.
Olukung’aana luno olwatudde ku kitebe kya NUP e Makerere-Kavule
lwetabiddwamu abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okuli; ababaka ba Palamenti, bassentebe ba disitulikiti, bakkansala n’abalala.
Mu lukiiko luno abakulembeze baatuuziddwa awatali kugoberera bitiibwa era  akkansala abamu baatudde mu maaso g’ababaka. Abamu ku bavuganya ku bifo ebyenjawulo baalabiddwa nga beeziimuula.
Olukiiko lwajjumbiddwa nnyo nga n’abamu ku bakulembeze aatatera kulabika ku kitebe baabaddewo nga Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Charles Tebandeke (Bbaale), Ssentebe wa LC 5 e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika n’abalala. Kyokka omubaka wa Nyendo Mukungwe, Mathias Mpuuga n’abamu ku bamukkiririzaamu okuli Joyce Baagala (Mukazi- Mityana), Abed Bwanika (Kimaanya-Kabonera), Michael Kakembo (Entebbe Munisipaali), ne Juliet Nakabuye Kakande (Mukazi Masaka City ) tebaalabiseeko. Abalala abatazze ye Bashir Kazibwe (Kawempe South), Jimmy Lwanga (Njeru Munisipaali) ne Twaha Kagabo (Bukoto Central).
Bobi teyalumye mu bigambo bwe yakabatemye nti : yenna alowooza nti kaadi ya NUP ya jjenjeero awo asaaga”. Yagambye nti abeenoonyeza ebyammwe ku luno nga balowooza nti bwe banaayambala akakoofiira akamyuufu ne bafuna kaadi ebyo byali bya luli, kati ekibiina tyetegese okusengejja bakandideeti ku mitendera gyonna.
“Mu kulonda okuwedde tetwalina budde bwetegereza bakulembeze be twawa kaadi kuba tewaali budde. Naye kati obudde bumala okukuba ttooci mu buli muntu eyeegwanyiza obukulembeze” bwe yalabudde.
Bobi yalaze okwennyamira olw’abakulembeze abamu abava mu Buganda abasusse okukozesebwa omuli ne be yali tasuubira ne bamulyamu olukwe naddala ababaka ba Palamenti.
Okulonda kwa 2026, Bobi Wine yagambye nti gwe mukisa gwokka oguliwo okukyusa obuyinza mu mirembe. Eno y’ensonga lwaki baatandise okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga bajjukiza abantu obuvunaanyizibwa bwabwe.
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Joel Ssenyonyi yayanjudde ababaka b’ekibiina b’atwala mu Palamenti era nga kumpi bonna baabaddewo.
Ssenyonyi yayanirizza omubaka Fortunate Nantongo (mukazi/Kyotera) eyalangiridde mu butongole nti yeegasse ku kibiina kya NUP ng’ava mu DP.
Omumyuka wa ssentebe wa NUP atwala Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi (Butambala) yasabye mukamawe Kyagulanyi awe ababaka abatategeerekeka omwezi
gumu nga singa baba tebeetereezezza ne beetonda balangirire  nti ebifo byabwe bikalu era naye n’akkiriza. Yamenye agamu ku mannya g’ababaka okuli; Mpuuga , Kakembo Mbwatekamwa, Jimmy Lwanga, Bashir Kazibwe, Juliet Kakande n’agamba nti byo bye bimu ku bifo ebikalu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});