Ali ku gwa kweyita mugagga n’anyaga
Apr 24, 2025
OMUYIZI wa S3 asindikiddwa Luzira ku bigambibwa nti yeekobaana n’abantu abalala babiri lwa kweyita nnaggagga Ham.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUYIZI wa S3 asindikiddwa Luzira ku bigambibwa nti yeekobaana n’abantu abalala babiri lwa kweyita nnaggagga Ham.
Ruth Nandase ne Babu Maniharah, ow’emyaka 33, omuzimbi, baaleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road ew’omulamuzi Ronald Kayizzi eyabasomedde omusango gw’okwefuula kye batali ne bagwegaana.
Bombi baguddwako emisango ebiriokuli ogw’okweyita kye batali wamu n’okukozesa olukujjukujju okunyaga ssente mu bantu ekikontana n’amateeka ga Uganda. Bano bavunaanibwa ne Frank Sempa, ow’emyaka 25, omutembeeyi,eyakwatibwa n’atwalibwa mu kkomera e Luzira.
Omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze yategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwe kuwedde n’asaba olunaku omusango lwe gunaatandika okuwulirwa. Kyazze, yategeezezza kkooti nti wakati wa 2023 ne February 2024, Sempa,
Maniharah, Nandase n’abalala abatannakwatibwa, baakozesa olukujjukujju ne balimba nti be ba Hamis Kiggundu owa Hamis Enterprises Ltd, nga bagenderera okubba abantu mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala. Empaaba ya kkooti yalaze nti nga January 29, 2025,
Sempa yaggya 50,000/- ku Shafic Kawooya ng’amulimba nti ye Ham n’ekigenderwa eky’omuyamba okufuna looni. Guddamu April 28.
No Comment