Ssaabakristu wa Uganda atenderezza emirimu gya Paapa

Apr 24, 2025

SSABAKRISTU w'eggwanga era nga y'amyuka akulira kampuni ya Vision Group Jarvesi Ndyanabo , atendereza emirimu emirungi ennyo ,egikoleddwa Omugenzi Paapa Francis okwetooloola ensi yonna.

NewVision Reporter
@NewVision

SSABAKRISTU w'eggwanga era nga y'amyuka akulira kampuni ya Vision Group Jarvesi Ndyanabo , atendereza emirimu emirungi ennyo ,egikoleddwa Omugenzi Paapa Francis okwetooloola ensi yonna.

Ategeezezza nti paapa abadde mwetoowaze nnyo era nga tasosola mu bantu nga buli muntu amutwala kyenkanyi.

Bino abyogedde y'akamala okuwandiika obubaka obukubagiza mu kitabo ekyassiddwawo kampuni ya Vision Group eri abakungubazi .

Ategeezezza nti ekitabo kino, kyasiddwawo okujjukira ebirungi ebingi ennyo Paapa by'akoledde ensi yonna awamu n'okutukyalira wano mu ggwanga

Mu kiseera kino abantu abakunukkiriza mu Kikumi , bamaze okuwandiika obubaka bwabwe obukubagiza n'okutendereza emirimu, egikoleddwa Paapa Francis

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});