Maama eyasuulira ab'essomero omwana nga tamuwadde na byetaago poliisi emuyigga

Apr 26, 2025

Ab’ekitongole ekikola ku nsonga z’amaka n’abaana mu munisipaali y’e Mukono nga bali wamu ne poliisi y’e Mukono batandise omuyiggo gwa maama agambibwa okutwala omwana ku ssomero n’amusulira abasomesa nga tamuwadde byetaag

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi eri ku muyiggo gwa maama eyasuula omwana ku ssomero n’abula

Ab’ekitongole ekikola ku nsonga z’amaka n’abaana mu munisipaali y’e Mukono nga bali wamu ne poliisi y’e Mukono batandise omuyiggo gwa maama agambibwa okutwala omwana ku ssomero n’amusulira abasomesa nga tamuwadde byetaago wadde okmusasulira ebisale by’essomero okuva ttaamu lwe yatandika n’okutuusa kati ng’ewedeko talabikako.

Nakku maama w'omwana gwe banoonya.

Nakku maama w'omwana gwe banoonya.

Jackeline Mirembe, akola ku nsonga z’amaka n’abaana mu munisipaali y’e Mukono yategeezezza nti baawaliriziddwa okuggulawo omusango ku poliisi y’e Mukono oluvannyuma lw’okugezaako okunoonya Joyce Nakku 43, maama w’omwana Nana Blessing Namaganda 7 asoma P2 ng’ono yamusuula ku ssomero lya Pherry Junior School e Mukono nga February 4, 2025 n’abulawo ne gye buli eno ne bwe bamukubira amasimu tagakwata.

Mirembe agamba nti okusinziira ku mukulu w’essomero lya Pherry, Nakku yatwala omwana n’amusabira ekifo ku lunaku olw’okubiri olwa ttaamu esooka nga February 4, kyokka yasasulako emitwalo 19 ku mitwalo 27 ezigula yunifoomu nga bwe baamugamba okusasula ebyetaago ebirala omuli n’ebisale by’essomero n’asaba omusomesa okugira ng’asigazza omwana ye agende mu bbanka afune ssente nga n’okutuusa kati taddanga ku ssomero.

Rogers Oboth, omukulu w’essomero lino agamba nti bwe baalaba Nakku takomawo ate ng’omwana yali talina kintu kyonna kyamulekedde, kwe kugezaako okukuba ku nnamba z’essimu ze yabalekera kyokka nga takwata.

 

“Twategeeza ddayirekita w’essomero, Sylvia Okite Nandudu ku nsonga zino ye n’atulagira omwana tumulabirire tumuwe n’eby’etaagisa byonna nga bwe tulinda muzadde we. Twasuubira nti ku lunaku lw’okukyalira abaana anaalabikako naye teyalabika,” bwe yannyonnyodde.

Oboth yategeezezza nti baasalawo okuddukira mu ofiisi y’avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana ku munisipaali, ng’ono ye yabawa amagezi okugenda ku poliisi okuggulawo omusango nabo kye baakola.

Ku poliisi e Mukono, Nakku baamuggulako omusango gw’okusuulawo omwana n’okumulagajjalira oguli ku ffayiro nnamba SD:75/24/03/2025.

Oboth yagambye nti bazadde b’abaana abasigadde baatwala abaana baabwe okulya Ppaasika naye Namaganda n’asigala yekka ku ssomero.

“Tulina okutya nti essomero liggalawo ttaamu esooka ku Lwokutaano nga April 30, 2025, tetumanyi omwana tugenda kumukola tutya,” bwe yeebuuzizza.

Omwana agamba nti omwaka oguwedde baabadde babeera Bweyogerere ng’asomera ku SKK Kindergarten and Primary School naye baasenguseeyo ne bagenda e Katosi. Abasomesa bwe baagezaako okugenda naye e Katosi abalage we babeera bagamba nti ono yalemererwa okumanya ewatuufu we babeera.

Mirembe yasabye oyo yenna amanyi ebikwata ku Nakku okuvaayo ategeeze poliisi oba akube ku nnamba eno 0200912353.

Ono yalabudde abazadde okwewala okwekola obusolosolo ku nsonga ezirimu abaana ne bwe kiba nti ensonga z’eby’enfuna kikalubye kuba kino kikyamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});