Aba Lotale y’e Mbalwa batongozza Pulezidenti omuggya

Apr 28, 2025

Bannalotale y’e Mbalwa mu disitulikiti Lotale eya Namugongo mu Kira munisipaali, Wakiso, baanirizza pulezidenti waabwe omuggya

NewVision Reporter
@NewVision

Bannalotale y’e Mbalwa mu disitulikiti Lotale eya Namugongo mu Kira munisipaali, Wakiso, baanirizza pulezidenti waabwe omuggya Rotarian Henry Ddungu n’abakuutira okwekwata omulamwa gwa Lotale mu mwaka guno ogwa ‘Okwegatta ku lw’obulungi (unite for Good)’ kibayambe okwongera okuweereza abalala n’okwekulaakulanya. 

Abadde Pulezidenti Ying. Kiggundu Ng'ayogera Ku Mukolo.

Abadde Pulezidenti Ying. Kiggundu Ng'ayogera Ku Mukolo.

Yasiimye omuyambi wa Governor, George Ochom olw’okubakumaakumanga okukolera awamu ne Governor omulonde Mable Bayenja Abigaba olw’obuwagizi okulaba nga basaanira okubeera ekibiina kya Lotale ekyetongodde ekya Mbalwa. 

Yagambye nti mu kisanja kye bagenda kwongera okufaayo ennyo ku byenjigiriza, ebyobulamu, abaana ab’obuwala n’obulenzi, okulwanirira obutonde bw’ensi n’okukola obutaweera okulaba nga lotale club y’e Mbalwa eyingiza bammemba abapya. 

Omumyuka wa gavana nnamba 9213, George Ochom avuddeko alambise Ddungu ku biki by’amusuubiramu n’amusaba okukola obutaweera kuba lotale y’e Mbalwa ya maanyi. 

Abadde pulezidenti Ying. Kenti Kiggundu yasabye pulezidenti omupya alondeddwa essira aliteeke ku kuweereza abantu. 

 

Yamusabye okujjumbira omukutu gwa My Rotary oguliko obubaka obwogera ku lotale nga bw'erina okutambula ne club ezenjawulo nga bwe zitambula. 

Amusabye okutwala mu maaso pulojekiti ze batandiseeko okuli okusimba emiti e Kiwale n’okwongera okutumbula ebyobulamu n’ebyenjigiriza. Ddungu yeebazizza bazadde be okuli Francis Ddungu Wasswa, Irene Bukenya n’abaana olw’okumubeererawo ku mukolo gwe ng’akwasibwa obukulembeze.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});