Entanda Paapa Francis gye yasibirira bannaddiini mu Uganda lwe yabasisinkana
Apr 29, 2025
OKUKYALA kwa Paapa Francis kati omugenzi mu 2015 mu Uganda kwacamula bangi naddala abo beyasisinkanako omwali abavubuka, bakateyamba, be yawubirako ku makubo kyokka ne babannaddiini tebayinza kwerabirwa.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUKYALA kwa Paapa Francis kati omugenzi mu 2015 mu Uganda kwacamula bangi naddala abo beyasisinkanako omwali abavubuka, bakateyamba, be yawubirako ku makubo kyokka ne babannaddiini tebayinza kwerabirwa.
Ku bugenyi buno Paapa Francis yasisinkana bannaddiini ku Lutikko e Lubaga akawungeezi nga October 28, 2015 n’abasibirira entanda mu buweereza bwabwe.
Paapa Francis N'omukono Omusibe.
Faaza Joseph Mukasa Nkeera eyali ow’ebyamawulire mu kiseera ekyo agamba nti ensisinkano ya Paapa ne bannaddiini yali ya muzinzi nnyo kubanga yabasibira entanda na buli kati kwe batambulira.
1. Faaza Nkeera agamba nti Paapa Francis yabakuutira obuteerabira. Kino yakyesigamya ku byawandiikibwa mu kitabo ky’Amateeka n’abategeeza nti nga Moses bwe yagamba abantu ba Katonda obuteerabira Katonda byabakoledde ne gy’abaggye, bannaddiini tebasaanye kwerabira eyo Omukama gye yabaggya era basiime nga nnyo Mukama by’abakoledde era Basabe nnyo enneema obuteerabira Katonda gy’abaggye.
2. Paapa Francis era yabakuutira okuteeka essira ku musaayi gw’abajulizi ogwayiika guleme kubeera nti gwayiika mu nsi Uganda ate ne guyiikira bwereere . Faaza Nkeera agamba nti yabasaba babeere abazira nga bakoppa obuzira obwo abajulizi bwe baayolesa olwo lwe banaasobola okufuuka abazira ab’enkya.
3. Faaza Nkeera nga mu kiseera kino aweereza mu Seminariyo Ggaba agamba nti mu nsisinkano ne Paapa Francis era yabakuutira okubeera abeesigwa ennyo ate abajjudde okwagala nga batuukiriza obuweereza bwabwe Mukama bwe yabakwasa.
4. Akawungeezi ako Paapa mu bannaddiini abaali bamwegese amaaso nga bamutegedde amatu yabategeeza nti okusinziira bw’alaba , Uganda erina bannaddiini bangi okusinga ku nsi endala. Yabasaba okuyambako mu buweereza mu nsi endala kubanga ezimu zirina batono ddala era bwe batumibwa baleme kugaana.
5. Paapa era yakuutira bannaddiini okubeera abeetoowaze nga bafaayo ku bantu abatafiibwako, abo ababuusibwa amaaso, naddala abaliko obulemu, abaana , abakadde, n’abo abeetaaga obuyambi obwenjawulo mu bitundu bye baweereza.
6. Faaza Nkeera ayongerako nti Paapa yabakuutira okubeera abeegayirizi ennyo. Wadde nga balina emirimu mingi egy’okukola, Paapa yabategeeza nti tebalina kwerabira ssaala mu bulamu bwabwe kubanga kye kisinga obukulu mu buweereza.
Mu buweereza obujjudde ebikemo , Paapa yabakuutira okwenyweza ku ssaala nga beegayigirira Omukama okubanyweza okuyita mu kusoomoozebwa kwonna kwe babaeera basanze nga baweereza.
7. Paapa era yayongera n’asaba bannaddiini okukkiriza ensobi singa babeera basobezza ate beenenye kw’ebyo bye babeera bakoze.
8. Faaza Nkeera agamba nti ebigambo bya Paapa Francis bafubye nnyo okubyesigamako mu bulamu bwabwe era bannaddiini bangi bagenze mu mawanga ag’enjawulo nga bakola obuweereza.
9. Yagambye ne bwe waba mu ggwanga wano Uganda mulimu ebitundu ebizibu okukoleramu obuweereza kyokka bangi beewaddeyo ne bakola awatali kwekaanya kwonna wakati ng’embeera mwe bakolera nzibu nnyo.
No Comment