Amawulire

Abazigu babbye waya z’amasannyalaze ku byalo 2 e Mityana

ABABBI balumbye ekyalo e Mityana ne batwala waya z’amasannyalaze mu buwanvu bwa kkiromita bbiri ekivuddeko eggombolola nnamba okumala ebbanga erisukka omwezi nga bali mu kibululu. 

Abazigu babbye waya z’amasannyalaze ku byalo 2 e Mityana
By: Luke Kagiri, Journalists @New Vision

ABABBI balumbye ekyalo e Mityana ne batwala waya z’amasannyalaze mu buwanvu bwa kkiromita bbiri ekivuddeko eggombolola nnamba okumala ebbanga erisukka omwezi nga bali mu kibululu. 

Ababbi abatambulira mu mmotoka nga bambadde ebyambalo ebyefaananyiriza eby’abakozi b’amasannyalaze baalumbye ekyalo Nawanjiri ekisangibwa mu ggombolola y’e Butayunja ne batandika okusala waya z’amasannyalaze ku miti nga bwe basuula emiti ku ttaka.

 

Waya baazisaze ku byalo bibiri e Nawanjiri ne Bekiina ekyavuddeko amasannyalaze okuvaako mu ggombolola yonna ku byalo okuli; Nawanjiri, Bekiina, Ngandwe , Butayonja, Kitongo, Nsabwa, Kkande, Kiggwa ne Bulesa.

Omu ku batuuze eyaliwo nga batwala waya eyasabye amannya ge okusirikirwa yagambye nti obubbi bwaliwo wiiki eyasembayo mu March nga ekitongole kya UMEME kinaatera okuvaawo.

“Nali mu nnimiro ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo nga ngoba obunyonyi ne ndaba emmotoka n’abasajja abambadde ebyambalo ebifaanana abamasannyalaze nga balinnya emiti ne ndowooza batereeza masannyalaze. 

Kyokka ng’enda okukomawo kumakya nga waya zonna baazitutte n’ebikondo baabisudde ku ttaka” bwe yategeezezza. Omutuuze omulala yagambye nti yawulira masiini esala emiti ng’ekaaba.

Kkansala w’eggombolola y’e Butayunja ku disitulikiti e Mityana, Saulo Nyakaana Kalwanga yagambye nti bizinensi z’abantu zikoseddwa nnyo olw’obutaba na masannyalaze. Bizinensi okuli ebyuma by’emmwaanyi, ebyuma by’obuwunga, saluuni n’endala tezikyakola.

Ssentebe wa L.C 1 ow’akabuga ke Kitongo, Abbey Nsubuga Kizito yagambye nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde mu mwezi gumu olw’enzikiza ennyingi. Abantu ennyumba baziyingira ku ssaawa 1:00 nga n’emitima gibasula bweru olw’okutya ababbi.

“Batugamba abakozi abaali aba UMEME be beegabanya ebintu naye tetumanyi mazima. Kyetukakasa, abaatwala waya n’okusuula emiti egyo baali bambadde ng’abakozi baabwe, ” Nsubuga bwe yagambye.

Yinginiya w’ekitongole kya UCDL, Allan Mugabe avunaanyizibwa ku disitulikiti y’e Mityana yakkirizza ng’obubbi bwa waya bwe bususse e Mityana.

Yasabye abantu okufaayo ku bantu abalinnya emiti bababuuze ebibakwatako era beebuuze ne ku bakulu abatwala ekitundu.

Tags:
Amawulire
Masannyalze
Mityana
Byalo
Bibiri
Waya
Bubbi