Museveni agumizza abakozi ku misaala

May 02, 2025

PULEZIDENTI Museveni agumizza abakozi ku bizibu ebibanyiga n'agamba nti bigenda kukolwako nga batandikira ku misaala n’agamba nti kabineeti egenda kutuula esalewo omusaala ogulina okutandikirwako okusasulwa.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni agumizza abakozi ku bizibu ebibanyiga n'agamba nti bigenda kukolwako nga batandikira ku misaala n’agamba nti kabineeti egenda kutuula esalewo omusaala ogulina okutandikirwako okusasulwa.

Yasinzidde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakozi olwakwatiddwa mu disitulikiti y’e Nakapiripiriti n’agamba nti ensonga eno kye kiseera ekolweko.

 

Yategeezezza nti abakulira abakozi yabasisinkanye ne bakkaanya nga bwe walina okubaawo omusaala ogutandikirwako eri abakozi ku mirimu egy’enjawulo.

Kino yagambye kabineeti egenda kukikolako n’ebizibu ebirala ebinyiga abakozi ng’emisolo emingi, kkampuni z’abagwira ezitawa bannansi mirimu, okuzimbira abakozi amayumba, abakozi obutaba na kontulakita n’ebizibu ebirala.

Pulezidenti yasanyukidde enkulaakulana etuukiddwaako e Karamoja omuli enguudo n’emirembe n’asaba abantu okubikozesa obulungi.

Wabula yalaze obutali bumativu olwa minisitule y’ebyenguudo okukola enguudo empya ne beerabira okuddaabiriza ezaakolebwa edda. 

Ensobi zino y’ensonga lwaki osanga oluguudo lw’e Moroto oluli ewala ennyo okuva e Kampala nga lukoleddwa, kyokka oluva e Jinja-Kampala nga luli mu mbeera mbi n’olwa Mityana- Mubende.

Yasabye enkulaakulana etuukiddwaako bagikozese okugaggawala nga beewala ebikolwa by’okubba ente beenyigire mu mirimu egivaamu ssente.

Mu kukola balina okuba n’ekigendererwa ky’okufuna ssente n’okweyambisa obukugu. Okuva Gavumenti ya NRM lwe yajja mu buyinza mu 1986, waliwo enkulakaulana ya maanyi etuukiddwaako ng’okubeera ng’abantu akakadde kamu n’emitwalo 40 balina emirimu mu makolero.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});